Scriptures
Keramani 2


Essuula 2

Keramani, mutabani wa Keramani, afuuka ssaabalamuzi; Gadiyantoni akulembera ekibinja kya Kisikumeni; omuweereza wa Keramani atta Kisikumeni, era ekibinja kya Gadiyantoni kiddukira mu lukoola. Nga mu mwaka gwa 50–49 nga Kristo tannazaalibwa.

Era olwatuuka mu mwaka ogw’amakumi ana mu ebiri ogw’obufuzi bw’abalamuzi, oluvannyuma lwa Molonayika okussaawo emirembe nate wakati w’Abaneefi n’Abalamani, laba tewaaliwo muntu yenna yali ayinza kutuula ku ntebe ey’obulamuzi; n’olwekyo waatandikawo enkaayana nate mu bantu ku ani agenda okutuula ku ntebe ey’obulamuzi.

Era olwatuuka Keramani, eyali mutabani wa Keramani, yalondebwa okutuula ku ntebe ey’obulamuzi, olw’eddoboozi ly’abantu.

Naye laba, Kisikumeni, eyali atemudde Pakolani, yali ate alindiridde okuzikiriza Keramani; era yali awagirwa ekibinja kye, abaali balagaanye endagaano nti tewali muntu yenna alina kumanya ku bubi bwe.

Kubanga waaliwo omu ayitibwa Gadiyantoni, eyali kafulu mu bigambo ebingi, era n’obukalabakalaba, okugenda mu maaso n’omulimu ogw’obutemu obw’ekyama n’obunyazi; n’olwekyo yafuuka omukulembeze w’ekibinja kya Kisikumeni.

N’olwekyo y’abawaaniriza, awamu ne Kisikumeni, nti bwe banaamuleka n’atuuzibwa ku ntebe ey’obulamizi yali wakukkiriza abo abaali mu kibinja kye, bateekebwe ku bukulu ne mu buyinza eri abantu; n’olwekyo Kisikumeni yafuba okuzikiriza Keramani.

Era olwatuuka bwe yagenda mu maaso ng’ayolekera entebe ey’obulamuzi okuzikiriza Keramani, laba omu ku baweereza ba Keramani, nga yali bweru ekiro ekyo, era yali afunye, okuyitira mu kwefuulafuula, okumanya ku nteekateeka ezo ezaali ziteekeddwawo ekibinja kino okuzikiriza Keramani;

Era olwatuuka y’asisinkana Kisikumeni, n’amuwenyako; n’olwekyo Kisikumeni n’amutegeezako ku kigendererwa ekyo kye yali ayagala, ng’ayagala amutwale okutuuka ku ntebe ey’omulamuzi asobole okutemula Keramani.

Era omuweereza wa Keramani bwe yamala okumanya omutima gwa Kisukumeni gwonna, n’engeri gye kyali ekigendererwa kye okutemula, era ate nti kyali kigendererwa ky’abo bonna abaali mu kibinja kye okutemula, n’okunyaga, n’okufuna obuyinza, (era eno ye yali enteekateeka yaabwe ey’ekyama, era ekibagatta) omuweereza wa Keramani n’agamba Kisikumeni nti: Tugende eri entebe ey’obulamuzi.

Kaakano kino kyasanyusa nnyo Kisikumeni, kubanga yalowooza nti yali wakutuukiriza enteekateeka ye; naye laba, omuweereza wa Keramani, bwe baali bagenda eri entebe ey’obulamuzi, y’afumitira ddala Kisikumeni ku mutima, n’agwa n’afa awatali kuwuuna. Era n’adduka n’abuulira Keramani byonna bye yali alabye, awulidde, ne by’akoze.

10 Era olwatuuka Keramani n’atumya ekibinja kino eky’abanyazi era abatemu ab’ekyama bakwatibwe, balyoke battibwe okusinziira ku mateeka.

11 Naye laba, Gadiyatoni bwe yazuula nti Kisikumeni teyakomawo n’atya nti ayinza okuzikirizibwa; n’olwekyo yalagira ekibinja kye okumugoberera. Ne badduka okuva mu nsi, mu kkubo ery’ekyama, ne bagenda mu lukoola; era bw’atyo Keramani bwe yatumya bakwatibwe ne batabasanga wantu wonna.

12 Era ebisingawo ku banyazi ba Gadiyantoni ono bijja kwogerwa oluvannyuma. Era bwe gutyo bwe gwaggwako omwaka ogw’amakumi ana mu ebiri ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri bantu ba Neefi.

13 Era laba, ku nkomerero y’ekitabo kino mujja kulaba nga Gadiyatoni ono yatuukiriza okuvuunikibwa, weewaawo, kumpi okuzikirizibwa kwonna okw’abantu ba Neefi.

14 Laba sitegeeza nkomerero ya kitabo kya Keramani, naye ntegeeza enkomerero y’ekitabo kya Neefi, mwe nziggye ennyinnyonyolwa y’ebyo byonna bye mpandiise.