Essuula 14
Samwiri awa obunnabbi ekitangaala okubeerawo mu kiro n’emmunyeenye empya ku kuzaalibwa kwa Kristo; Kristo anunula abantu okuva mu kufa okw’omubiri n’okw’omwoyo; Ku bubonero obw’okufaakwe mulimu ennaku ssatu ez’ekizikiza, okumenyekamenyeka okw’enjazi, obutabanguko obw’amaanyi ennyo obw’obutonde. Nga mu mwaka gwa 6 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era kaakano olwatuuka Samwiri, Omulamani, yawa obunnabbi ku bintu ebikulu bingi ebitayinza kuwandiikibwa.
2 Era laba, yabagamba nti, Laba, mbawa akabonero; emyaka emirala etaano gijja, era laba, olwo wajje Omwana wa Katonda okununula abo bonna abalikkiririza mu linnya lye.
3 Era laba, kino kye kyenja okubawa nga akabonero mu kiseera eky’okujja kwe; kubanga laba, walibaawo okwakayakana okw’amaanyi mu bwengula, ddala okutuusa nti mu kiro nga tannaba kujja tewalibaawo kizikiza, ddala okutuusa nti kirirabika ng’obudde obw’emisana eri omuntu.
4 N’olwekyo, walibaawo olunaku lumu n’ekiro n’olunaku, nga kiringa nti lwali olunaku lumu era nga tewaaliwo kiro; era kano kalibeera akabonero gye muli; kubanga mulimanya okuvaayo kw’enjuba era n’okugwa kwayo; n’olwekyo balimanya obukakafu nti walibaawo ennaku bbiri n’ekiro kimu; newakubadde nga kiriba kityo ekiro tekiriba kya kizikiza; era kye kiribeera ekiro ekyo nga tannazaalibwa.
5 Era laba, walibaawo emmunyeenye empya erirabika, emu nga eyo gye mutalabangako; era kino nakyo kiribeera akabonero gye muli.
6 Era laba kino si kye kyokka, walibaawo obubonero bungi n’ebyewuunyo mu bwengula.
7 Era kirituukirira mwenna muliwuniikirira, era n’okwewuunya, ddala okutuusa nti muligwa ku ttaka.
8 Era kirituukirira nti buli oyo yenna alikkiririza mu Mwana wa Katonda, y’omu alibeera n’obulamu obutaggwaawo.
9 Era laba, bw’atyo Mukama bwandagidde, okuyita mu malayika we, nti nzije mbabuulire ekintu kino; weewaawo, alagidde nti nsaana okulangirira ebintu bino gye muli; weewaawo, aŋŋambye nti: Langirira eri abantu bano, mwenenye era muteeketeeke ekkubo lya Mukama.
10 Era kaakano, kubanga ndi Mulamani, era nga njogedde gye muli ebigambo Mukama byandagidde, era olw’okubanga byali bizibu gye muli, muli banyiivu gye ndi era munoonya okunsanyaawo, era mungobye okubaviira.
11 Era mujja kuwulira ebigambo byange, kubanga, olw’ekigendererwa kino kyenvudde mpalampa waggulu ku buggwe w’ekibuga kino, olwo musobole okuwulira n’okumanya ebibonerezo bya Katonda ebibalindiridde olw’obubi bwammwe, era ate musobole okumanya obukwakkulizo obw’okwenenya;
12 Era ate nti mulyoke mumanye ku kujja kwa Yesu Kristo, Omwana wa Katonda, Kitaffe ow’obwengula n’ensi, Omutonzi w’ebintu byonna okuviira ddala ku lubereberye; era mulyoke mumanye obubonero obw’okujja kwe, eri ekigendererwa nti musobole okukkiririza mu linnya lye.
13 Era bwe mukkiririza mu linnya lye mujja kwenenya ebibi byammwe byonna, olwo mu ngeri eyo mulyoke mufune okusonyiyibwa kwabyo okuyita mu birungi bye.
14 Era laba, nate, akabonero akalala ke mbawa, weewaawo, akabonero ak’okufa kwe.
15 Kubanga laba, mazima ddala alina okufa obulokozi bulyoke bujje; weewaawo, kimukakatako era ne kiba nga kyetaagisa ye okufa, okutuukiriza okuzuukira kw’abafu, mu ngeri eyo abantu basobole okuleetebwa mu maaso ga Mukama.
16 Weewaawo, laba, okufa kuno kuleetawo okuzuukira, n’okununula abantu bonna okuva mu kufa okwasooka; okufa okwo okw’omwoyo; okw’abantu bonna, olw’okugwa kwa Adamu mu kibi nga agobeddwa mu maaso ga Mukama, batwalibwa ng’abafu, wamu eri ebintu eby’ekiseera n’eri ebintu eby’omwoyo.
17 Naye laba, okuzuukira kwa Kristo kununula abantu, weewaawo, ddala abantu bonna, era kubakomyawo mu maaso ga Mukama.
18 Weewaawo, era kuleetawo okutuukiriza obukwakkulizo obw’okwenenya, olwo buli oyo yenna eyeenenya y’omu atalitemebwa n’okusuulibwa mu muliro; naye buli oyo yenna ateenenye atemebwa n’asuulibwa mu muliro; era awo bajjirwa okufa okw’omwoyo nate, weewaawo, okufa okw’okubiri, kubanga nate baboolebwa eri ebintu ebyekuusa ku butuukirivu.
19 N’olwekyo mwenenye mmwe, mwenenye mmwe, si kulwa nga okumanya ebintu bino ne mutabikola muneereetera okuusalirwa omusango, era mubeere nga muleeteddwa wansi mu kufa kuno okw’okubiri.
20 Naye laba, nga bwe nnabagambye ebikwata ku kabonero akalala, akabonero ak’okufa kwe, laba, ku lunaku olwo lw’alibonaaboneramu okufa enjuba erizikira n’egaana okuwa ekitangaala kyayo gye muli; era ate n’omwezi n’emmunyeenye; era tewajja kubaawo ekitangaala ku lukalu lw’ensi eno, ddala okuva mu kiseera ekyo lw’anabonaabona okufa, okumala ebbanga ery’ennaku essatu, okutuusa mu kiseera ekyo lw’anazuukira okuva mu bafu.
21 Weewaawo, ku ssaawa eyo lw’anawaayo omwoyo walibaawo okubwatuka n’obumyanso okumala ebbanga ery’essaawa ennyingi, era ensi erijugumira era n’okukankana; era n’enjazi eziri ku lukalu lw’ensi eno, eziri ku nsi wamu ne wansi waayo, ezo mmwe zemumanyi mu kiseera kino nti ziri kitole, oba ekitundu kyazo ekisinga obunene nga kitole ekyekutte awamu, ziryasibwamu.
22 Weewaawo, ziriyabuluzibwamu bibiri, era oluvannyuma zirisangibwamu olubeerera entabiro n’enjatika, era nga zirabika mu butundutundu obumenyese ku lukalu lw’ensi yonna, weewaawo, kungulu ku lukalu lw’ensi wamu ne wansi waayo.
23 Era laba, walibaawo omuyaga ogw’amaanyi, era walibaawo ensozi nnyingi ezisetezeddwa, okufaananako ekiwonvu, era wabeewo ebifo bingi kaakano ebiyitibwa ebiwonvu ebirifuuka ensozi, ng’obuwanvu bwazo bwa waggulu nnyo.
24 Era mwasanjala nnyingi zirimenyebwamu, era n’ebibuga bingi birifuuka matongo.
25 Era entaana nnyingi ziriggulwawo, era ziriwaayo bangi ku bafu baazo; era n’abatukuvu bangi balirabika eri abangi.
26 Era laba, bw’atyo malayika bw’ayogedde gye ndi; kubanga yaŋŋamba nti walibaawo okubwatuka kwa laddu n’okumyansa okumala ebbanga ery’essaawa ennyingi.
27 Era y’aŋŋamba nti okubwatuka n’okumyansa nga bikyagenda mu maaso, era n’omuyaga, ebintu bino birina okubaawo, era nti ekizikiza kirina okubuutikira olukalu lw’ensi yonna okumala ebbanga lya nnaku ssatu.
28 Era malayika y’aŋŋamba nti bangi baliraba ebintu eby’ekitalo okusinga bino, eri ekigendererwa nti basobole okukkiriza nti obubonero buno n’ebyewuunyo bino birina okutuukirira ku lukalu lw’ensi eno yonna, eri ekigendererwa nti tewalibaawo nsonga ya butakkiriza mu baana b’abantu;
29 Era kino eri ekigendererwa nti buli oyo yenna anakkiriza asobole okulokolebwa, era nti buli oyo yenna atakkirize, ennamulwa ey’obutuukirivu eryoke emutuukeko; era ate singa babeera basaliddwa omusango beereetako bokka okusalirwa kwabwe omusango.
30 Era kaakano mujjukire, mujjukire, baganda bange, nti buli oyo yenna azikirira, azikirira ku lulwe; era na buli oyo yenna akola ebibi, aba abikola nga ye; kubanga laba, muli ba ddembe; abakkirizza okukola ebikolwa ku lwammwe; kubanga laba, Katonda abawadde okumanya era abafudde ba ddembe.
31 Abawadde musobole okumanya ekirungi okuva ku kibi, era abawadde musobole okulondawo okubeera abalamu oba okufa; era musobola okukola ekirungi ne muzzibwa buggya eri ekyo ekirungi, oba okuddizibwa ekyo ekirungi; oba musobola okukola ekibi, era ne muddizibwa ekyo ekibi.