Scriptures
Keramani 10


Essuula 10

Mukama awa Neefi obuyinza obw’okugatta; Aweebwa amaanyi okusiba n’okusumulula ku nsi ne mu ggulu; Alagira abantu okwenenya oba okuzikirira; Omwoyo amutwala okuva nkuyanja ku nkuyanja y’abantu. Nga mu mwaka gwa 21–20 nga Kristo tannazaalibwa.

Era olwatuuka wabaawo enjawukana mu bantu, ddala okutuusa nti baayawukana kino ne kiri ne bigenda mu makubo gaabwe, ne baleka Neefi yekka, bwe yali ng’ayimiridde mu masekkati gaabwe.

Era olwatuuka Neefi yagenda ng’ayolekedde ennyumba ye, nga bw’afumiitiriza ku bintu Mukama bye yali amulaze.

Era olwatuuka bwe yali ng’afumiitiriza bw’atyo; ng’awotookeredde olw’obubi bw’abantu b’Abaneefi, ebikolwa byabwe eby’ekizikiza eby’ekyama, era n’ettemu lyabwe, era n’okunyaga kwabwe, era n’obubi obw’engeri zonna; era olwatuuka bwe yali ng’afumiitiriza bw’atyo mu mutima gwe, laba, eddoboozi lyajja gy’ali nga ligamba nti:

Olina omukisa ggwe, Neefi, olw’ebintu ebyo by’okoze; kubanga ndabye engeri gy’olangiridde ekigambo kye nnakuwadde awatali kukoowa eri abantu bano. Era tobatidde, era tonoonyeza butafiirwa bulamu bwo, wabula onoonyezza okwagala kwange, n’okukuuma ebiragiro byange.

Era kaakano, kubanga okoze kino n’obutakoowa bwe butyo, laba, nnaakuwa omukisa emirembe gyonna; era nnaakufuula ow’amaanyi mu bigambo ne mu bikolwa, mu kukkiriza ne mu kukola; weewaawo, era nti ebintu byonna binaakolebwanga okusinziira ku kigambo kyo, kubanga tosabenga ekyo ekikontana n’okwagala kwange.

Laba, ggwe Neefi, era ndi Katonda. Laba, nkutegeeza mu maaso ga bamalayika bange, nti oliba n’obuyinza ku bantu bano, era onaabonereza ensi n’enjala, era ne kawumpuli, era n’okuzikirizibwa, okusinziira ku bubi bw’abantu bano.

Laba, nkuwa obuyinza, buli kyonna ky’oligatta ku nsi kirigattibwa mu ggulu; era na buli ky’olisumulula ku nsi kirisumululwa mu ggulu; era bw’otyo bw’onabeera n’obuyinza mu bantu bano.

Era bw’otyo, singa on’agamba yeekaalu eno eyabulukukemu bibiri, kinaakolebwa.

Era singa on’agamba olusozi luno nti, ggwa wansi ofuuke omuseetwe, kinaakolebwa.

10 Era laba, bw’onagamba nti Katonda alibonereza abantu bano, kirituukirira.

11 Era kaakano laba, nkulagira, nti ojja kugenda olangirire eri abantu bano, nti bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda, oyo ayinza byonna nti: Okuggyako nga mwenenyezza mujja kubonerezebwa, ddala okutuuka okuzikirizibwa.

12 Era laba, kaakano olwatuuka Mukama bwe yamala okwogera ebigambo bino eri Neefi, yayimirira n’atagenda mu nnyumba ye yennyini, naye n’addayo eri enkuyanja y’abantu abaali basaasaanidde ku lukalu lw’ensi, era yatandika okulangirira gye bali ekigambo kya Mukama ekyali kimugambiddwa, ekikwata ku kuzikirizibwa kwabwe singa tebeenenya.

13 Kaakano laba, newakubadde Neefi yali akoze ekyamagero ekyo ekikulu mu kubabuulira ebikwata ku kufa kwa ssaabalamuzi, baakakanyaza emitima gyabwe ne batawuliriza bigambo bya Mukama.

14 N’olwekyo Neefi yalangirira gye bali ekigambo kya Mukama, ng’agamba nti: Okuggyako nga mwenenyezza, bw’atyo bw’ayogera Mukama, munaakubibwa ddala okutuuka okuzikirizibwa.

15 Era olwatuuka Neefi olwamala okulangirira ekigambo gye bali, laba, baasigala bakyakakanyazza emitima gyabwe ne batayagala kuwuliriza bigambo bye; n’olwekyo, kyebava bamuvuma, ne baagala okumukwata olwo bamusuule mu kkomera.

16 Naye laba, amaanyi ga Katonda gaali wamu naye, ne batasobola kumutwala kumusuula mu kkomera, kubanga yatwalibwa Omwoyo n’aggibwa masekkati gaabwe.

17 Era olwatuuka bw’atyo yagenda mu Mwoyo, okuva nkuyanja ku nkuyanja ey’abantu, ng’alangirira ekigambo kya Katonda, ddala okutuusa lwe yakirangirira eri bo bonna, oba ng’akiweereza mu bantu bonna.

18 Era olwatuuka tebaawuliriza bigambo bye; era watandika okubaawo enkaayana, okukkakkana nga beeyawuddemu era batandika okuttiŋŋana n’ekitala.

19 Era bwe gutyo bwe gwaggwako omwaka ogw’ensanvu mu ogumu ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi.