Scriptures
Keramani 6


Essuula 6

Abalamani abatuukirivu babuulira eri Abaneefi ababi; Abantu bano bombi bakulaakulana mu kiseera eky’emirembe n’obungi mu buli kimu; Lusifa, omutandisi w’ekibi, asiikula emitima gy’ababi n’abanyazi ba Gadiyantoni mu butemu n’obubi; Abanyazi bawamba obufuzi bw’Abaneefi. Nga mu mwaka gwa 29–23 nga Kristo tannazaalibwa.

Era olwatuuka omwaka ogw’enkaaga mu ebiri ogw’obufuzi bw’abalamuzi nga guweddeko, ebintu bino byonna byali bibaddewo era nga Abalamani, ekitundu ekisinga obunene ku bo baali bafuuse, abantu abatuukirivu, ddala okutuusa nti obutuukirivu bwabwe bwasukkuluma obw’Abaneefi, olw’obunywevu bwabwe n’obutasagaasagana bwabwe mu kukkiriza.

Kubanga laba, waaliwo bangi ku Baneefi abaali bafuuse abakakanyavu era abatabonerera era nga babi nnyo, okukkakana nti baagana ekigambo kya Katonda n’okubuulira kwonna n’obunnabbi ebyajjanga mu bo.

Wabula, abantu b’ekkanisa baalina essanyu lingi olw’okukyuka kw’Abalamani, weewaawo, olw’ekkanisa ya Katonda, eyali eteekeddwawo mu bo. Era baabeeranga bumu buli omu n’omulala, era basanyukanga buli omu n’omulala, era baalina essanyu lingi.

Era olwatuuka bangi ku Balamani baaserengeta mu nsi ya Zalakemula, era baalangirira eri abantu b’Abaneefi engeri gye baakyusibwamu, era baabakubiriza okubeera n’okukkiriza n’okwenenya.

Weewaawo, era bangi baabuulira n’amaanyi n’obuyinza obw’amaanyi ennyo ddala, n’okutuuka okukkakkanya bangi mu buziba bw’obwetoowaze, okubeera abagoberezi ba Katonda n’Omwana gw’endiga abawombeefu.

Era olwatuuka bangi ku Balamani baagenda mu nsi ey’omu bukiikakkono; era Neefi ne Leki nabo baagenda mu nsi ey’omu bukiikakkono, okubuulira eri abantu. Era bwe gutyo bwe gwaggwako omwaka ogw’enkaaga mu esatu.

Era laba, mu nsi yonna mwalimu emirembe, ddala okutuusa nti Abaneefi baagenda mu buli kitundu kyonna eky’ensi gye baasobolanga, oba mu Baneefi oba Abalamani.

Era olwatuuka Abalamani nabo baagenda yonna gye basobolanga, oba waalinga mu Balamani oba mu Baneefi; era bwe batyo bwe baakolagananga awataali kukugirwa buli omu n’omulala, okugula n’okutunda, era n’okufuna obugagga, okusinziira ku kye baayagalanga.

Era olwatuuka baagaggawala nnyo eby’ensusso, bombi Abalamani n’Abaneefi; era baali balina zaabu asukkiridde mu bungi, era ne ffeeza, era n’ebyuma eby’omuwendo ebya buli ngeri zonna, mu nsi zombi ey’ebukiikaddyo ne mu nsi ey’ebukiikakkono.

10 Kaakano ensi ey’ebukiikaddyo yayitibwanga Leki, n’ensi ey’ebukiikakkono yayitibwanga Muleki, eyabbulwa mu mutabani wa Zeddekiya; kubanga Mukama yaleeta Muleki mu nsi ey’ebukiikakkono, ne Leki mu nsi ey’ebukiikaddyo.

11 Era laba, mu nsi zino zombi mwalimu zaabu ow’engeri zonna, ne eza ffeeza, ne ez’amayinja ag’obugagga aga buli kika; era waaliwo abakozi b’emirimu emiyooyote obulungi, abaakolanga emirimu egya buli kika egy’amayinja ag’obugagga era ne bagalongoosa era bwe batyo baagaggawala.

12 Ddala baalima emmere ey’empeke mu bungi, wonna mu bukiikakkono awamu ne mu bukiikaddyo; era baakulaakulana nnyo, wonna mu bukiikakkono awamu ne mu bukiikaddyo. Era beeyongera obungi n’okubeera ab’amaanyi ennyo mu nsi. Era baalunda ebisibo n’amagana mangi, weewaawo, era n’ensolo ensava nnyingi.

13 Laba abakazi baabwe baakolanga nnyo era n’okuluka, era baakolanga engoye ez’engeri zonna, eza bafuta erangiddwa obulungi n’engoye eza buli kika, okwambaza obwereere bwabwe. Era bwe gutyo omwaka ogw’enkaaga mu ena bwe gwaggwako mu mirembe.

14 Era mu mwaka ogw’enkaaga mu etaano namwo baalina essanyu lingi n’emirembe, weewaawo, okubuulira okungi n’obunnabbi obungi obwali bukwata ku ekyo ekyali kigenda okujja. Era bwe gutyo bwe gwaggwako omwaka ogw’enkaaga mu etaano.

15 Era olwatuuka mu mwaka ogw’enkaaga mu omukaaga ogw’obufuzi bw’abalamuzi, laba, Sezolamu yattibwa omukono ogutaamanyiddwa bwe yali ng’atudde ku ntebe ey’obulamuzi. Era olwatuuka mu mwaka gwe gumu, olwo mutabani we, eyali alondeddwa abantu okudda mu kifo kye, naye yattibwa. Era bwe gutyo bwe gwaggwako omwaka ogw’enkaaga mu omukaaga.

16 Era mu ntandikwa y’omwaka ogw’enkaaga mu omusanvu abantu baatandika nate okweyongera okubeera ababi ennyo.

17 Kubanga laba, okumala ebbanga eddene ennyo Mukama yali abawadde omukisa ogw’obugagga obw’ensi ne kiba nti baali baludde nga tebaasiikulwa kusunguwala, eri entalo, wadde okuyiwa omusaayi; n’olwekyo baatandika okussa emitima gyabwe ku bugagga bwabwe; weewaawo, baatandika okugezaako okufuna obugagga olwo basobole okwegulumiza buli omu ku mulala, n’olwekyo baatandika okukola ettemu ery’ekyama, n’okubba n’okunyaga, basobole okufuna obugagga.

18 Era kaakano laba, abatemu abo n’abanyazi baali ba kibinja ekyali kyatandikibwawo Kisikumeni ne Gadiyantoni. Era kaakano ekiseera kyatuuka olwo nga bangi, ddala ne mu Baneefi, ab’ekibinja kya Gadiyantoni. Naye laba, baali bangi nnyo mu kitundu eky’Abalamani ekyali kisinga okuba ekibi ennyo. Era bayitibwanga abanyazi n’abatemu ba Gadiyantoni.

19 Era baali bo abaatemula ssaabalamuzi Sezolamu, ne mutabani we, bwe baali ku ntebe ey’obulamuzi; era laba, tebaazulibwa.

20 Era kaakano olwatuuka Abalamani bwe baakizuula nti mu bo mwalimu abanyazi baanakuwala nnyo; era ne bakozesanga buli ekyasoboka mu buyinza bwabwe okubazikiririza ddala okuva ku lukalu lw’ensi.

21 Naye laba, setaani yasikuula emitima gy’abasinga obungi ku Baneefi, okukkakana nti beegatta wamu n’ebibinja ebyo eby’abanyazi, era baalagaana endagaano zaabwe era n’ebirayiro byabwe, nti buli omu yali waakukuumanga n’okulwanirira munne mu buli mbeera yonna gye baliyisibwamu k’ebeere nzibu etya, olwo beewale okubonerezebwa olw’ettemu lyabwe, n’obunyazi bwabwe, n’okubba kwabwe.

22 Era olwatuuka balina obubonero bwabwe, weewaawo, obubonero bwabwe obw’ekyama, n’ebigambo byabwe eby’ekyama; era kino basobole okwawula ow’oluganda eyali alagaanye endagaano, nti obubi bwonna muganda we bw’anakolanga aleme okulumizibwa muganda we, yadde abo abaali ab’ekibinja kye, abaali balagaanye endagaano eno.

23 Era bwe batyo basobole okutemula, n’okunyaga, n’okubba, era n’okwenda era n’obubi obw’engeri zonna, ebikontana n’amateeka g’ensi yaabwe era n’amateeka ga Katonda waabwe.

24 Era buli yenna kw’abo abaali mu kibinja kyabwe singa yalonkomanga obubi bwabwe n’ebizira byabwe eri ensi, yalina okuwozesebwa, si okusinziira ku mateeka g’ensi yaabwe, wabula okusinziira ku mateeka g’obubi bwabwe, agaali gaabawebwa Gadiyantoni ne Kisikumeni.

25 Kaakano laba, by’ebirayiro bino eby’ekyama n’endagaano Aluma bye yakuutira mutabani we nti tebirina kumanyika eri ensi, si kulwa nga bifuuka ekkubo eriserengesa abantu mu kuzikirizibwa.

26 Kaakano laba, ebirayiro ebyo eby’ekyama n’endagaano tebyajja eri Gadiyantoni okuva mu biwandiiko ebyaweebwa eri Keramani; naye laba, byateekebwa mu mutima gwa Gadiyantoni ekitonde ekyo kye kimu ekyasendasenda bazadde baffe abaasooka okulya ku kibala ekyabaganibwa;

27 Weewaawo, ekitonde ekyo kye kimu ekyakola olukwe ne Kayini, nti singa anatta muganda we Aberi tekijja kumanyibwa nsi. Era yakola olukwe ne Kayini n’abagoberezi be okuva mu kiseera ekyo n’okutuusa kaakano.

28 Era ate ky’ekitonde ekyo kye kimu ekya kiteeka mu mitima gy’abantu okuzimba omunaala omuwanvu ekimala olwo basobole okutuuka mu bwengula. Era kyali ekitonde ekyo kyennyini ekyakulembera abantu abaava ku munaala ogwo ne bayingira mu nsi eno; abaabunya ebikolwa eby’ekizikiza n’ebizira ku lukalu lw’ensi yonna, okutuusa lwe yasikambula abantu bonna wansi mu kuzikirizibwa, era ne mu ggeyeena ey’olubeerera.

29 Weewaawo, ekitonde ekyo kye kimu ekya kiteeka mu mutima gwa Gadiyantoni okwongera okutwala mu maaso omulimu ogw’eby’ekizikiza, n’ettemu ery’ekyama; era kibitambuzza okuva ku ntandikwa y’omuntu n’okutuukira ddala mu kiseera kino.

30 Era laba, ye kennyini ye mutandisi w’ekibi kyonna. Era laba, agenda mu maaso n’ebikolwa bye eby’ekizikiza n’ettemu ery’ekyama, atambuza enkwe zaabwe, n’ebirayiro byabwe, n’endagaano zaabwe, n’enteekateeka zaabwe ez’obubi obw’entiisa, okuva ku mulembe okudda ku mulala okutuuka ku ssa ly’okufuna obuyinza ku mitima gy’abaana b’abantu.

31 Era kaakano laba, yali afunye obuyinza obw’amaanyi ku mitima gy’Abaneefi; weewaawo, ddala okutuusa nti baali bafuuse babi nnyo; weewaawo, ekitundu ekisinga obunene ku bo kyali kivudde mu kkubo ery’obutuukirivu, era ne balinnyirira wansi w’ebigere byabwe ebiragiro bya Katonda, era ne badda mu makubo gaabwe ku bwabwe, era ne beebumbira ebibumbe ebya zaabu waabwe ne ffeeza waabwe.

32 Era olwatuuka obubi buno bwonna bwabatuukako mu bbanga eritaali lya myaka mingi, okukkakana ng’obusinga obungi bwali buzze gye bali mu mwaka ogw’enkaaga mu omusanvu ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi.

33 Era ne mu mwaka ogw’enkaaga mu omunaana nagwo bannyikira mu butali butuukirivu bwabwe, ekyaleeta ennaku ennyingi ennyo n’okukungubaga kw’abatuukirivu.

34 Era bwe tutyo tulaba nti Abaneefi baatandika okubulira mu butakkiriza, n’okuwaganyalira mu bubi n’ebizira, ate Abalamani ne batandika okukula ennyo mu kumanya Katonda waabwe; weewaawo, ddala baatandika okukuuma amateeka ge n’ebiragiro bye, era n’okutambulira mu mazima n’obutuukirivu mu maaso ge.

35 Era bwe tutyo tulaba nti Omwoyo wa Mukama yatandika okusegulira Abaneefi, olw’obubi n’obukakanyavu bw’emitima gyabwe.

36 Era bwe tutyo tulaba nti Mukama yatandika okuyiwa Omwoyo we ku Balamani, olw’obugoonvu bwabwe n’okwewaayo okukkiririza mu bigambo bye.

37 Era olwatuuka Abalamani baayigga ekibinja ky’abanyazi ba Gadiyantoni; era baabuulira ekigambo kya Katonda mu kitundu kyabwe ekyali kisinga okuba ekibi ennyo, ddala okutuusa nti ekibinja kino eky’abanyazi kyazikiririzibwa ddala okuva mu Balamani.

38 Era olwatuuka nga ku ludda olulala, Abaneefi baabawaga era n’okubawagira, nga batandikira mu kitundu kyabwe ekyali kisingira ddala obubi, okutuusa lwe baabuna mu nsi yonna ey’Abaneefi, era nga baali baseenzesenze ekitundu ekisinga obungi eky’abatuukirivu okutuusa nga batuuse ku ssa ery’okukkiririza mu bikolwa byabwe ne bagabana ku munyago gwabwe, era n’okubeeggatako mu ttemu lyabwe ery’ekyama n’emikago.

39 Era bwe batyo bwe bafuna obuyinza bwonna ku nzirukanya y’ebyobufuzi, okukkakana nga baalinnyirira wansi w’ebigere byabwe n’okutta, n’okutulugunya era n’okulagajjalira abaavu n’abetoowaze, n’abagoberezi ba Katonda abawombeefu.

40 Era bwe tutyo tulaba nti baali mu mbeera ey’entiisa, era nga bengererera eri okuzikirizibwa okw’olubeerera.

41 Era olwatuuka bwe gutyo bwe gwaggwako omwaka ogw’enkaaga mu omunaana ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi.