Scriptures
Keramani 15


Essuula 15

Mukama yakangavvula Abaneefi kubanga yali abaagala; Abalamani abakyusibwa banywevu era tebasagaasagana mu kukkiriza; Mukama ajja kubeera wakisa eri Abalamani mu nnaku ez’oluvannyuma. Nga mu mwaka gwa 6 nga Kristo tannazaalibwa.

Era kaakano, baganda bange abaagalwa, laba, nnangirira gye muli nti okuggyako nga mulyenenya ennyumba zammwe zirifuuka bifulukwa gye muli.

Weewaawo, okuggyako nga mwenenyezza, abakazi bammwe baliba n’ensonga nnyingi okukungubaga ku lunaku lwe baliba bayonsa; kubanga muligezaako okudduka era tewalibaawo kifo wa kubudama; weewaawo, era zibasanze abo abali embuto, kubanga baliba bazito era nga tebasobola kudduka; n’olwekyo, balirinnyirwa wansi era balirekebwa okusaanawo.

Weewaawo, zibasanze abantu bano abayitibwa abantu ba Neefi okuggyako nga balyenenya, bwe baliraba obubonero buno bwonna n’ebyewuunyo ebiribalagibwa; kubanga laba, babadde bantu ba Mukama abalonde; weewaawo, ayagadde abantu ba Neefi, era ate abakangavvudde; weewaawo, mu nnaku ez’obubi bwabwe abakangavvudde kubanga abaagala.

Naye mulabe baganda bange, Abalamaani yabakyawa kubanga ebikolwa byabwe bibadde bibi obutasalako, era kino olw’obwonoonefu bw’obulombolombo bwa bajjajjaabwe. Naye laba, obulokozi butuuse gye bali okuyita mu kubuulira kw’Abaneefi; era olw’ekigendererwa kino Mukama ayongezayo ennaku zaabwe.

Era nnandyagadde mulabe nti ekitundu ekisinga obungi ku bo bali mu kkubo ly’omulimu gwabwe, era batambula n’obwegendereza mu maaso ga Katonda, era bafuba okukuuma ebiragiro bye n’amateeka ge n’okusalawo kwe okusinziira ku mateeka ga Musa.

Weewaawo, mbagamba, nti ekitundu ekisinga obungi ku bo kino bakikola, era bafuba n’obunyiikivu obutakoowa olwo basobole okuleeta baganda baabwe abasigadde mu kumanya amazima; n’olwekyo waliwo bangi abeeyongera ku muwendo gwabwe buli olukya.

Era laba, mmwe mwennyini mumanyi, kubanga mukirabyeko, nti bangi ku bo nga bwe baleetebwa okumanya amazima, n’okumanya obubi n’obulombolombo obuzira obwa bajjajjaabwe, era ne baluŋŋamizibwa okukkiriza ebyawandiikibwa ebitukuvu, weewaawo, obunnabbi bwa bannabbi abatukuvu, obuwandiikiddwa, obubakulembera eri okukkiririza mu Mukama, era n’eri okwenenya, ng’okukkiriza n’okwenenya bibaleetera enkyukakyuka mu mitima;

N’olwekyo, abangi nga bwe batuuse ku kino, mmwe mwennyini mumanyi nti banywevu era abatasagaasagana mu kukkiriza, era ne mu kintu mwebafuuliddwa ab’eddembe.

Era ate mumanyi nti baziise ebyokulwanyisa byabwe eby’olutalo, era nga batya okubikwata si kulwa nga mu ngeri yonna basindikirizibwa okwonoona; weewaawo, mukiraba nti batya okwonoona; kubanga laba balyewaayo okulinnyirwa wansi era n’okuttibwa abalabe baabwe, era tebalisitula bitala byabwe gye bali, era kino olw’okukkiriza kwabwe mu Kristo.

10 Era kaakano, olw’obumalirivu bwabwe bwe bakkiririza mu kintu ekyo kye bakkiriza, olw’obutakyukakyuka bwabwe bwe baabanga bayigiriziddwa, laba, Mukama alibawa omukisa n’okwongezayo ennaku zaabwe, newakubadde obubi bwabwe.

11 Weewaawo, ddala ne bwe babulira mu butakkiriza Mukama ajja kwongezayo ennaku zaabwe, okutuusa ekiseera lwe kirituuka ekyayogerwako bakitaffe, era ate ne nnabbi Zenosi, era ne bannabbi abalala bangi, ku bikwata ku kukomyawo baganda baffe, Abalamani, nate eri okumanya amazima;

12 Weewaawo, mbagamba, nti mu biseera eby’oluvannyuma ebisuubizo bya Mukama biweereddwa eri baganda baffe, Abalamani; era newakubadde ebibonoobono ebingi bye balifuna, era newakubadde nga baligobebwa eno n’eri ku lukalu lw’ensi, era bayiggibwe, era bakubibwe n’okusaasaanyizibwa ebweru w’eggwanga, nga tebalina kifo wa kubudama, Mukama alibeera wakisa gye bali.

13 Era kisinziira ku bunnabbi, nti balireetebwa nate eri okumanya okwa nnamaddala, nga kwe kumanya kw’Omununuzi waabwe, era omusumba waabwe omukulu era ow’amazima, era babalibwe wamu n’endiga ze.

14 N’olwekyo mbagamba nti, kiribeera kalekaleko gye bali okusinga mmwe okuggyako nga mwenenyezza.

15 Kubanga laba, singa emirimu egy’ekitalo gyali giraggiddwa bo egyo egiraggiddwa mmwe, weewaawo, eri abo ababulidde mu butakkiriza olw’obulombolombo obwa bakitaabwe, musobola okukiraba mmwe mwennyini nti tebandizzeemu kubulira mu butakkiriza nate.

16 N’olwekyo, bw’ayogera Mukama: Ssiribazikiririza ddala, wabula ndisalawo olunaku olw’okumanya kwange lwe balikomawo gye ndi nate, bw’ayogera Mukama.

17 Era kaakano laba, bw’ayogera Mukama, ku bikwata ku bantu b’Abaneefi: Singa tebenenye, ne bafubanga okukola okwagala kwange, nja kubazikiririza ddala, bw’ayogera Mukama, olw’obutakkiriza bwabwe newakubadde nga nkoze emirimu emingi egy’amaanyi mu bo; era mazima ddala Mukama nga bwali omulamu n’ebintu bino bwe biribeera, bw’ayogera Mukama.