Scriptures
Keramani 13


Obunnabbi bwa Samwiri, Omulamani, eri Abaneefi.

Birimu essuula 13 okutuuka ku 15.

Essuula 13

Samwiri Omulamani awa obunnabbi ku kuzikirizibwa kw’Abaneefi okuggyako nga benenyezza; Bo n’obuggaga bwabwe bakolimirwa; Bagaana era ne bakuba bannabbi amayinja, beetooloolwa emyoyo emibi, era ne banoonya essanyu mu kukola ebibi. Nga mu mwaka gwa 6 nga Kristo tannazaalibwa.

Era kaakano olwatuuka mu mwaka ogw’ekinaana mu omukaaga, Abaneefi baali bakyasigadde mu bubi, weewaawo, mu bubi obw’amaanyi ennyo, ate ng’Abalamani baafubanga n’obukakali okukuuma ebiragiro bya Katonda, nga basinziira ku mateeka ga Musa.

Era olwatuuka mu mwaka guno waaliwo omu Samwiri, Omulamani, yajja mu nsi y’e Zalakemula, era n’atandika okubuulira eri abantu. Era olwatuuka yabuulira, ennaku nnyingi, okwenenya eri abantu, era ne bamugobera wabweru, era yali anaatera okuddayo mu nsi ye.

Naye laba, eddoboozi lya Mukama lyajja gy’ali, nti addeyo nate, era awe obunnabbi eri abantu ku bintu byonna ebinaaba bizze mu mutima gwe.

Era olwatuuka tebaamukkiriza kuyingira mu kibuga; n’olwekyo yagenda n’alinnya waggulu ku buggwe eyaliwo, era n’agolola omukono gwe n’alangirira mu ddoboozi ery’omwanguka, era n’awa obunnabbi eri abantu ebintu byonna Mukama bye yateeka mu mutima gwe.

Era n’abagamba nti: Laba, nze, Samwiri, Omulamaani, njogera ebigambo bya Mukama by’ateeka mu mutima gwange; era laba akitadde mu mutima gwange okugamba abantu bano nti ekitala eky’obwenkanya kigaluddwa eri abantu bano; era emyaka ebikumi bina tegiriyitawo ng’ekitala eky’obwenkanya tekinnaba kugwa ku bantu bano.

Weewaawo, okuzikirizibwa okw’amaanyi kulindiridde abantu bano, era mazima ddala kujja eri abantu bano, era tewali kiyinza kulokola bantu bano okuggyako bwe kubeera okwenenya n’okukkiririza mu Mukama Yesu Kristo, Oyo mazima ddala alijja mu nsi, era alibonyabonyezebwa ebintu bingi era alittibwa ku lw’abantu be.

Era laba, malayika wa Mukama akirangiridde gye ndi, era y’aleeta amawulire ag’essanyu eri emmeeme yange. Era laba, nnatumibwa okukirangirira gye muli nate, mulyoke mufune amawulire ag’essanyu; naye laba temunnyanirizza.

N’olwekyo, bw’atyo bw’ayogera Mukama nti: Olw’obukakanyavu bw’emitima gy’abantu b’Abaneefi, okuggyako nga benenyezza nja kubaggyako ekigambo kyange, era nja kubaggyako Omwoyo wange, era sijja kubakkiriza nate, era nja kukyusa emitima gya baganda baabwe okubawakanya.

Era emyaka ebikumi bina tegiriyitawo nga sinnaba kubaleetera kukubwa; weewaawo, nja kubakyalira n’ekitala n’enjala ne kawumpuli.

10 Weewaawo, nja kubakyalira mu busungu bwange obw’entiisa, era walibaawo abo ab’omulembe ogw’okuna abalisigalawo nga balamu, balabe bammwe, okulaba okuzikirizibwa kwammwe okwenkomeredde; era kino mazima ddala kirijja okuggyako nga mwenenyezza, bw’ayogera Mukama; era abo ab’omulembe ogw’okuna balireetawo okuzikirizibwa kwammwe.

11 Naye bwe munenenya ne muddayo eri Mukama Katonda wammwe nja kuggyawo obusungu bwange, bw’ayogera Mukama; weewaawo, bw’atyo bw’ayogera Mukama, baweereddwa omukisa abo abalyenenya era ne badda gye ndi, wabula zimusanze oyo atenenye.

12 Weewaawo, zikisanze ekibuga kino eky’amaanyi eky’e Zalakemula; kubanga laba, ku lw’abo abatuukirivu kirokolebwa; weewaawo, zikisanze ekibuga kino ekinene, kubanga nkitegeera, bw’ayogera Mukama, nti waliyo bangi, weewaawo, ddala ekitundu ekisinga obunene ku kibuga kino ekinene, abalikakanyaza emitima gyabwe gye ndi, bw‘ayogera Mukama.

13 Naye bamukisa abo abalyenenya, kubanga bo ndibataliza. Naye laba, singa si lw’abatuukirivu abali mu kibuga kino eky’amaanyi, laba, nnandiragidde omuliro okukka okuva mu bwengula ne gukisaanyaawo.

14 Naye laba, ku lw’abatuukirivu kitaliziddwa. Naye laba, ekiseera kijja, bw’ayogera Mukama, nti bwe muligoba abatuukirivu okuva mu mmwe, olwo mulibeera mwengedde eri okuzikirizibwa; weewaawo, zikisanze ekibuga kino eky’amaanyi, olw’obubi n’ebizira ebikirimu.

15 Weewaawo, era zikisanze ekibuga ky’e Gidiyoni, olw’obubi n’ebizira ebikirimu.

16 Weewaawo, era zibisanze ebibuga byonna ebiri mu nsi ezetooloddewo, Abaneefi bye balinako obwanannyini, olw’obubi n’ebizira ebiri mu byo.

17 Era laba, ekikolimo kirijja eri ensi, bw’ayogera Mukama ow’eggye, olw’abantu bano abali ku nsi, weewaawo, olw’obubi bwabwe n’ebizira byabwe

18 Era kirituukirira, bw’ayogera Mukama ow’eggye, weewaawo, Katonda waffe omukulu era ow’amazima, nti buli oyo yenna alikweka eby’obuggaga mu ttaka taliddamu kubisanga nate, olw’ekikolimo ekinene eky’ensi, okuggyako nga alibeera omusajja omutuukirivu era nga alibikweka eri Mukama.

19 Kubanga nja kukikola, bw’ayogera Mukama, nti balikweka eby’obuggaga byabwe gye ndi; era bakolimirwe abo abatalikweka bya bugagga byabwe gye ndi; kubanga tewali n’omu alikweka bya bugagga bye gye ndi okuggyako abatuukirivu; era n’oyo atakweka bya bugagga bye gye ndi, akolimiddwa, era n’eky’obuggaga, era tewalibeera n’omu alikizuula olw’ekikolimo eky’ensi.

20 Era olunnaku lulituuka lwe balikweka eby’obugagga byabwe, kubanga beesigamizza emitima gyabwe ku by’obugagga; era kubanga beesigamizza emitima gyabwe ku by’obugagga byabwe, era balikweka eby’obugagga byabwe bwe baliba badduka okuva mu maaso g’abalabe baabwe; kubanga tebajja kubikweka gye ndi, bakolimiddwa era n’eby’obugagga byabwe; era ku lunaku olwo balikubibwa, bw’ayogera Mukama.

21 Mulabe mmwe, abantu b’ekibuga kino eky’amaanyi, era muwulirize ebigambo byange; weewaawo, muwulirize ebigambo Mukama by’ayogera; kubanga laba, ayogera nti mukolimiddwa olw’eby’obugagga byammwe, era ate n’eby’obugagga byammwe bikolimiddwa kubanga mwesigamizza emitima gyammwe ku byo, era temuwulirizza bigambo by’oyo eyabibawa.

22 Temujjukira Mukama Katonda wammwe mu bintu by’abaweereddemu omukisa, naye lubeerera mujjukira bya bugagga byammwe, si kwebaza Mukama Katonda wammwe ku lwabyo; weewaawo, emitima gyammwe tegifaayo eri Mukama, naye gigejja n’amalala amangi, eri okwewaana, n’eri okwegulumiza okw’amaanyi, obuggya, enkaayana, ettima, ekiyigganyizo, era n’ettemu, era n’engeri zonna ez’obubi.

23 Olw’ensonga eno Mukama Katonda kyavudde akkiriza ekikolimo okujja ku nsi, era ne ku bugagga bwammwe, era kino kubanga olw’obubi bwammwe.

24 Weewaawo, zibasanze abantu bano, olw’ekiseera kino ekituuse, nti mugoba bannabbi, era ne mu baŋŋoola, era ne mu bakasukira amayinja, era ne mu batta, era ne mubakolako obubi obw’engeri zonna, ddala nga bwe bakolanga ab’ebiseera eby’edda

25 Era kaakano bwe mwogera, mugamba nti: Singa ebiro byaffe byaliwo mu biro bya bakitaffe ab’edda, tetwandisse bannabbi; tetwandibakubye mayinja, era n’okubagobera ebweru.

26 Laba muli babi n’okusinga bo; kubanga Mukama nga bw’ali omulamu, singa nnabbi ajja mu mmwe n’alangirira gye muli ekigambo kya Mukama, ekirumiriza ebibi n’obwonoonefu bwammwe, mumusunguwalira, era ne mumugobera wabweru ne munoonya engeri zonna okumuzikiriza; weewaawo, mujja kugamba nti nnabbi wa bulimba, era nti mwonoonyi, era owa setaani, kubanga awa obujulizi nti ebikolwa byammwe bibi.

27 Naye laba, singa omuntu alijja mu mmwe n’agamba nti: Mukole kino, era teriiyo bwonoonefu; mukole ekyo era temujja kubonaabona; weewaawo, ajja kugamba nti: Mutambule okusinziira ku malala ag’emitima gyammwe; weewaawo, mutambule okusinziira ku malala ag’amaaso gammwe, era mukole buli kyonna omutima gwammwe kye gwagala; era omuntu bw’anajja mu mmwe n’ayogera bino, mujja kumusembeza, era mugambe nti ye nnabbi.

28 Weewaawo, mujja kumugulumiza, era mujja kumuwa ne ku bintu byammwe; mujja kumuwa ku zaabu wammwe, ne ku ffeeza wammwe, era mujja kumwambaza engoye ez’omuwendo omungi; era kubanga ayogera ebigambo ebiwaaniriza gye muli, era agamba nti byonna biri bulungi, era olwo temulimuzuulamu nsobi yonna.

29 Ayi mmwe ababi era mmwe omulembe ogukyamye; mmwe abakalubo era abantu ab’ensingo enkakanyavu, munaatuusawa okulowooza nti Mukama ajja kubaleka? Weewaawo, munaatuusawa okukkiriza okukulemberwa abakulembeze abasirusiru era abazibe b’amaaso? Weewaawo, munaatuusawa okulondawo ekizikiza okusinga ekitangaala?

30 Weewaawo, laba, obusungu bwa Katonda bubakoleeredde; laba, akolimidde ensi olw’obutali butuukirivu bwammwe.

31 Era laba, ekiseera kijja akolimire eby’obugagga byammwe, olwo bifuuke biseerevu, nga temukyasobola kubinyweza; era mu biro byammwe eby’obwavu nga temuyinza kubisigaza.

32 Era mu biro byammwe eby’obwavu mulirajanira Mukama; era okulaajana kwammwe kulibeera kwa bwereere, kubanga okuzikirira kammwe ddekabusa kumaze okujja gye muli, era okuzikiribwa kwammwe kukakasiddwa; era olwo mulikuba ebiwoobe era n’okubaluuka ku lunaku olwo, bw’ayogera Mukama ow’eggye. Era olwo mulikungubaga, era mugambe nti:

33 Kale singa nnali nnenenyezza, era nga ssatta bannabbi, era n’okubakuba amayinja, era n’okubagobera ebweru. Weewaawo, ku lunaku olwo muligamba nti: kale singa twali tujjukidde Mukama Katonda waffe ku lunaku mweyatuweera eby’obugagga bwaffe, era olwo tebyandifuuse biseerevu ffe okubifiirwa; kubanga laba, eby’obugagga byaffe bituvuddeko.

34 Laba, tuteeka ekikozesebwa wano era enkeera nga kigenze; era laba, ebitala byaffe bituggiddwako ku lunaku lwe tubinoonyezza okubikozesa mu lutalo.

35 Weewaawo, tukwese eby’obubagga byaffe era bitusimattuseko, olw’ekikolimo eky’ensi.

36 Kale singa twali twenenyezza mu lunaku ekigambo kya Mukama lwe kyajja gye tuli; kubanga laba ensi ekolimiddwa, era n’ebintu byonna bifuuse biseerevu, era tetuyinza kubinyweza.

37 Laba, twetoolooddwa emyoyo emibi, weewaawo, tuzingiziddwa wonna bamalayika b’oyo anoonyezza okuzikiriza emyoyo gyaffe. Laba, obubi bwaffe bw’amaanyi. Ayi Mukama, toyinza kuggyawo busungu bwo gye tuli? Era luno lwe lulibeera olulimi lwammwe mu biro ebyo.

38 Naye laba, ennaku zammwe ez’okugezesebwa ziyise; mwongezezzaayo olunaku lwammwe olw’okulokolebwa okutuusa lwe kinaaba ekikeerezi olubeerera, era okuzikirizibwa kwammwe kukakasiddwa; weewaawo, kubanga ennaku ez’obulamu bwammwe zonna muwammanse ekyo kye mwali temuyinza kufuna; era munoonyezza essanyu mu kukola ebibi, ekintu ekikontana n’obwenkanya obwetaagibwa obwo obuli mu Mutonzi waffe omukulu era Omutwe ogw’Olubeerera.

39 Ayi mmwe abantu b’ensi, mwandiwulirizza ebigambo byange! Era nsaba nti obusungu bwa Katonda bubaggibweko, era nti mwandyenenyezza ne mulokolebwa.