Scriptures
Keramani 4


Essuula 4

Bakyewaggula Abaneefi n’Abalamani beegatta ne batwala ensi ya Zalakemula; Okuwangulwa kw’Abaneefi kujja olw’obubi bwabwe; Ekkanisa ekendeera mu bunene ne mu maanyi, era abantu bafuuka banafu ng’Abalamani. Nga mu mwaka gwa 38–30 nga Kristo tannazaalibwa.

Era olwatuuka mu mwaka ogw’amakumi ataano mu ena wabaawo obutakkaanya bungi mu kkanisa, era waaliwo enkaayana mu bantu, okukkakana nga waaliwo okuyiwa omusaayi okungi.

Era ekitundu ekijeemu kyattibwa ne bagobebwa okuva mu nsi, era baagenda eri kabaka w’Abalamani.

Era olwatuuka baafuba okusiikuula Abalamani okulwana n’Abaneefi; naye laba, Abalamani baali batya nnyo, okutuusa nti tebaawuliriza bigambo by’abo abaabulizi.

Naye olwatuuka mu mwaka ogw’amakumi ataano mu mukaaga ogw’obufuzi bw’abalamuzi, waaliwo bakyewaggula abaayambuka okuva mu Baneefi okugenda eri Abalamani; baawangula awamu n’abo abalala mu kubasiikuula okusunguwalira Abaneefi; era omwaka ogwo gwonna baali beetegekera olutalo.

Era mu mwaka ogw’amakumi ataano mu musanvu baaserengeta okulumba Abaneefi okulwana, era ne batandika omulimu gw’okutta; weewaawo, ddala okutuusa nti mu mwaka ogw’amakumi ataano mu munaana ogw’obufuzi bw’abalamuzi baasobola okufuna ensi y’e Zalakemula; weewaawo, era ate n’ensi zonna, n’okutuukira ddala mu nsi eyali okumpi n’ensi Kyengera.

Era Abaneefi n’amagye ga Molonayika baagoberwa mu nsi y’e Kyengera;

Era eyo gye baanywereza eby’okwerinda byabwe eri Abalamani, okuva ku nnyanja ey’ebugwanjuba, okutuukira ddala ku luuyi olw’ebuvanjuba; nga olwo lugendo lwa lunaku lumu eri Omuneefi, ku nsalo gye baali banywezezza eby’okwerinda era n’okuteeka amagye gaabwe okulwanirira ensi yaabwe ey’ebukiikakkono.

Era bwe batyo bakyewaggula abo ab’Abaneefi, nga bayambibwako eggye eddene ery’Abalamani, baali bafunye eby’obugagga byonna eby’Abaneefi ebyali mu nsi ey’omu bukiikaddyo. Era bino byonna byakolebwa mu mwaka ogw’amakumi ataano mu omunaana n’ogw’mwenda egy’obufuzi bw’abalamuzi.

Era olwatuuka mu mwaka ogw’enkaaga ogw’obufuzi bw’abalamuzi, Molonayika yafuna obuwanguzi n’amagye ge mu kufuna ebitundu ebingi eby’ensi; weewaawo, beddiza ebibuga bingi ebyali bigudde mu mikono gy’Abalamani.

10 Era olwatuuka mu mwaka ogw’enkaaga mu ogumu ogw’obufuzi bw’abalamuzi baasobola okweddiriza ddala ekitundu eky’eby’obugagga byabwe byonna.

11 Kaakano okufiirwa kuno okw’amaanyi ennyo okw’Abaneefi, era n’okusanjagibwa okw’amaanyi ennyo okwali mu bo, tebyandibaddewo singa tebwali bubi bwabwe n’ebizira ebyali mu bo; weewaawo, era byali ne mw’abo abeeyitanga ab’ekkanisa ya Katonda.

12 Era kyali olw’amalala ag’emitima gyabwe, olw’obugagga bwabwe obusukkiridde, weewaawo, kyali olw’okunyigirizanga abaavu, okumma emmere yaabwe abayala, okumma engoye zaabwe abali obukunya, n’okuba baganda baabwe abeetoowaze empi ku matama, okusekerera ebyo ebyali ebitukuvu, okwegaana omwoyo ogw’obunnabbi n’ogw’okubikkulirwa, okutemula, okunyaga, okulimba, okubba, okwenda, okugolokokera mu nkaayana ez’amaanyi, n’okweggula ne badda mu nsi ya Neefi, ne beeggatta ku Balamani;

13 Era olwa kino eky’obubi bwabwe obw’amaanyi, n’okwegulumizanga kwabwe olw’amaanyi gaabwe, baalekebwa bokka mu maanyi gaabwe ag’obuntu; n’olwekyo kyebaava batakulaakulana, wabula babonyaabonyezebwa n’okukubwa, ne bagobebwa okuva mu maaso g’Abalamani, okutuusa nga baafiiriddwa kumpi ettaka lyabwe lyonna.

14 Naye laba, Molonayika yabuulira ebintu bingi eri abantu olw’ebibi byabwe, era nate Neefi ne Leki, abaali batabani ba Keramani, baabuulira ebintu bingi eri abantu, weewaawo, era ne bawa obunnabbi ku bintu bingi gye bali ebikwata ku bibi byabwe, ne kinaabatuukako singa tebeenenya bibi byabwe.

15 Era olwatuuka beenenya, era kasita beenenya baatandika okukulaakulana.

16 Kubanga Molonayika bwe yalaba nga benenyezza yenyigira mu kubakulembera okuva kifo ku kifo, era n’okuva kibuga ku kibuga, okutuusiza ddala lwe beddiza ekitundu ku by’obugagga byabwe n’ekitundu ku ttaka lyabwe lyonna.

17 Era bwe gutyo omwaka ogw’enkaaga mu ogumu ogw’obufuzi bw’abalamuzi bwe gwaggwako.

18 Era olwatuuka mu mwaka ogw’enkaaga mu ebiri ogw’obufuzi bw’abalamuzi, Molonayika teyasobola kwongera kufuna bya bugagga birala ku Balamani.

19 N’olwekyo baayimiriza enteekateeka yaabwe okufuna ettaka lyabwe eryali lisigaddeyo, kubanga Abalamani baali bangi nnyo ne kiba nti kyafuuka ekitasoboka eri Abaneefi okufuna amaanyi agasingawo ku bo; n’olwekyo Molonayika kyeyava akozesa amagye ge gonna mu kukuuma ebitundu ebyo bye yali atutte.

20 Era olwatuuka, olw’obungi bw’omuwendo gw’Abalamani Abaneefi baali mu kutya okungi, si kulwa nga bawangulwa, ne balinnyirirwa wansi, ne battibwa, era ne bazikirizibwa.

21 Weewaawo, baatandika okujjukira obunnabbi bwa Aluma, era n’ebigambo bya Mosiya; era ne balaba nga babadde bantu abakakanyavu b’ensingo, era nga baali baziimudde ebiragiro bya Katonda;

22 Era baali bakyusizza n’okulinnyirira wansi w’ebigere byabwe amateeka ga Mosiya, oba ago Mukama ge yamulagira okuwa abantu; era baalaba nti amateeka gaabwe gafuuse aganyigiriza, era nga baali bafuuse abantu ababi, ddala okutuuka nti baali babi nga n’okufaananako Abalamani.

23 Era olw’ebibi byabwe ekkanisa yali etandise okukendeera mu bunene ne mu maanyi; era ne batandika obutakkiririza mu mwoyo ogw’obunnabbi ne mu mwoyo ogw’okubikkulirwa; era bibonerezo bya Katonda byali bibalindiridde.

24 Era baalaba nga baali banafuye, nga baganda baabwe, Abalamani, era nti Omwoyo wa Mukama yali takyabakuuma; weewaawo, yali abasegulidde kubanga Omwoyo wa Mukama tabeera mu yeekaalu ezitali ntukuvu;

25 N’olwekyo Mukama yalekera awo okubakuuma n’amaanyi ge ag’ekyamagero era agatenkanika, kubanga baali bagudde mu mbeera ey’obutakkiriza n’obubi obw’entiisa; era balaba ng’Abalamani baali bangi nnyo okubasinga, era okuggyako nga banyweredde ku Mukama Katonda waabwe bateekwa awatali kwewalika okuzikirira.

26 Kubanga laba, baalaba ng’amaanyi g’Abalamani gaali mangi ng’amaanyi gaabwe, ddala musajja ku musajja. Era bwe batyo bwe baali bagudde mu kusobya kuno okw’amaanyi; weewaawo, bwe batyo bwe baali banafuye, olw’okusobya kwabwe, mu bbanga ery’emyaka egitaali mingi.