Scriptures
Keramani 3


Essuula 3

Abaneefi bangi basenguka okugenda mu nsi ey’ebukiikakkono; Bazimba amayumba aga ttala era ne bakuuma ebiwandiiko bingi; Emitwalo n’emitwalo bakyusibwa era ne babatizibwa; Ekigambo kya Katonda kituusa abantu ku bulokozi; Neefi mutabani wa Keramani atuuzibwa ku ntebe ey’obulamuzi. Nga mu mwaka gwa 49–39 nga Kristo tannazaalibwa.

Era kaakano olwatuuka mu mwaka ogw’amakumi ana mu esatu ogw’obufuzi bw’abalamuzi, tewaaliwo nkaayana mu bantu ba Neefi okuggyako amalala amatono agaali mu kkanisa, agaaleeta obutakkaanya obutonotono mu bantu, ensonga ezaagonjoolwa ku nkomerero y’omwaka ogw’amakumi ana mu esatu.

Era tewaaliwo nkaayana mu bantu mu mwaka ogw’amakumi ana mu ena; so tewaaliwo nkaayana z’amaanyi mu mwaka ogw’amakumi ana mu etaano.

Era olwatuuka mu gw’amakumi ana mu mukaaga, weewaawo, waaliwo enkaayana ez’amaanyi n’obutakkaanya bungi; okutuusa nti waaliwo bangi nnyo abaava mu nsi y’e Zalakemula, ne baagenda mu nsi ey’ebukiikakkono okusikira ensi.

Era baatambula olugendo luwanvu nnyo, okukkakana nti baatuuka ku nnyanja ez’amazzi amangi n’emigga emingi.

Weewaawo, era ddala baasaasaana mu bitundu byonna eby’ensi, mu buli bitundu byonna ebitaasuubirwa kubeera nkalaggye n’obutabeeramu miti, olw’abatuuze abangi abaali baasooka okusikira ensi.

Era kaakano tewali kitundu kya nsi kyali nkalaggye, nga oggyeko eky’obutabeera na miti; naye olw’okwenkana awo okw’okuzikirizibwa okw’abantu abaali babadde mu nsi eyo yayitibwa nkalaggye.

Era olw’okubeerawo emiti naye nga mitono ku lukalu lw’ensi, naye nga oggyeko ekyo abantu bagenda mu maaso okufuuka abakugu ennyo mu kukozesa ttala; n’olwekyo baazimba amayumba ga ttala, mwe baabeeranga.

Era olwatuuka beeyongera era ne basaasaana, era baava mu nsi ey’omu bukiikaddyo ne bagenda mu nsi ey’omu bukiikakkono, era baasaasaana ne batandika okubuna olukalu lw’ensi yonna, okuva ku nnyanja ebukiikaddyo okutuuka ku nnyanja ebukiikakkono, okuva ku nnyanja ebugwanjuba okutuuka ku nnyanja ebuvanjuba.

Era abantu abaali mu nsi ey’ebukiikakkono baabeeranga mu weema, era ne mu mayumba aga ttala, era baatalizanga buli muti gwonna ogwalinga gumeruse ku lukalu lw’ensi olwo gulyoke gukule, nti ekiseera bwe kirituuka balyoke bafune embaawo okuzimba ennyumba zaabwe, weewaawo, ebibuga byabwe, era ne yeekaalu zaabwe, era n’amakuŋŋaaniro gaabwe, n’ebifo byabwe ebitukuvu, n’ebizimbe byabwe byonna ebya buli ngeri.

10 Era olwatuuka emiti nga bwe gyali egy’ebbula ennyo mu nsi ey’ebukiikakkono, baaweerezebwa mingi mu ngeri ey’okugisaabaza.

11 Era bwe batyo baasobozesa abantu mu bitundu ebyo mu nsi ey’omu bukiikakkono olwo basobole okuzimba ebibuga bingi, eby’embaawo ne ttala.

12 Era olwatuuka wabaawo bangi ku bantu ba Amoni, abaali ab’obuzaale bw’Abalamani, nabo baagenda mu nsi eno.

13 Era kaakano waliwo ebiwandiiko bingi ebikwata ku bikolwa by’abantu bano ebikuumiddwa, abangi ku bantu bano, ebittottola ate nga bingi nnyo, ebibakwatako.

14 Naye laba, ekitundu ekye kikumi eky’ebikolwa by’abantu bano, weewaawo, ennyinnyonyolwa y’Abalamani n’Abaneefi, era n’entalo zaabwe, n’ennyombo, era n’obutakkaanya, n’okubuulira kwabwe, era n’obunnabbi bwabwe, n’okusaabaza kwabwe, era n’okuzimba kwabwe ebyombo, era n’okuzimba kwabwe yeekaalu, era n’okw’amakuŋŋaaniro n’ebifo byabwe ebitukuvu, era n’obutuukirivu bwabwe, n’obubi bwabwe, n’ettemu lyabwe, n’obubbi bwabwe, n’obunyazi bwabwe, n’ebizira eby’engeri zonna n’obwenzi, tebiyinza kugya mu biwandiikiddwa bino.

15 Naye laba, waliwo ebitabo bingi n’ebiwandiiko bingi ebya buli kika, era bikuumiddwa okusingira ddala Abaneefi.

16 Era bisikiziddwa Abaneefi okuva ku mulembe ogumu okudda ku mulala, ddala okutuusa lwe bagudde mu kusobya era batemuddwa, banyagiddwa, ne bayiggibwa, era bagobeddwa, era battiddwa, era ne basaasaanyiziddwa ku lukalu lw’ensi, era beetabudde mu b’Abalamani okutuusa nga tebakyayitibwa Baneefi, nga bafuuse ababi, era abatwaggufu, era abakambwe, weewaawo, okufuukira ddala Abalamani.

17 Era kaakano ka nzire nate ku nnyinnyonyolwa yange; n’olwekyo, bye njogedde byali biyise oluvannyuma lw’okubaawo ennyombo ez’amaanyi, n’obutabanguko, n’entalo, n’obutakkaanya, mu bantu ba Neefi.

18 Omwaka ogw’amakumi ana mu mukaaga ogw’obufuzi bw’abalamuzi ne guggwako;

19 Era olwatuuka waali wakyaliwo enkaayana nnyingi mu nsi, weewaawo, ddala mu mwaka ogw’amakumi ana mu omusanvu, era ne mu mwaka ogw’amakumi ana mu omunaana.

20 Wadde nga kyali kityo Keramani yatuula ku ntebe y’obulamuzi n’obwenkanya n’obutekubiira; weewaawo, yafuba okukuuma amateeka, n’ennamula, n’ebiragiro bya Katonda; era yakolanga ekyo ekituufu mu maaso ga Katonda bulijjo; yatambuliranga mu bigere bya kitaawe, ddala okutuuka nti yakulaakulana mu nsi.

21 Era olwatuuka yalina abatabani babiri. Yatuuma omukulu erinnya lya Neefi, n’omuto, erinnya lya Leki. Era baatandika okukulira mu Mukama.

22 Era olwatuuka entalo n’enkaayana byatandika okukendeera, mu kigero ekitonotono, mu bantu b’Abaneefi, ku nkomerero ey’omwaka ogw’amakumi ana mu omunaana ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi.

23 Era olwatuuka mu mwaka ogw’amakumi ana mu omwenda ogw’obufuzi bw’abalamuzi, waaliwo emirembe egitatadde egyateekebwawo mu nsi, wonna okuggyako emikago egy’ekyama Gadiyantoni omunyazi gye yali ataddewo mu bitundu by’ensi ebyali bisinze okusengebwamu, mu kiseera ekyo egyali tegimanyiddwa abo abaali ku ntikko mu bufuzi; n’olwekyo tegyamalibwawo kuva mu nsi.

24 Era olwatuuka mu mwaka guno gwe gumu waaliwo enkulaakulana ey’amaanyi ennyo mu kkanisa, ddala okutuusa nti waaliwo enkumi n’enkumi abeegatta ku kkanisa ne babatizibwa ku lw’okwenenya.

25 Era enkulaakulana y’ekkanisa yali y’amaanyi nnyo, era n’emikisa mingi nnyo egyayiibwa ku bantu, nti ne bakabona ab’oku ntikko n’abasomesa nabo bennyini beewuunya nnyo ekisusse.

26 Era olwatuuka omulimu gwa Mukama gwakulaakulana ekyavaamu okubatiza n’okugatta ku kkanisa ya Katonda, abantu abangi, weewaawo, ddala emitwalo n’emitwalo.

27 Bwe tutyo tusaana tulabe nti Mukama wa kisa eri bonna abajja, mu bwesimbu bw’emitima gyabwe, okukoowoola erinnya lye ettukuvu.

28 Weewaawo, bwe tutyo tulaba nga omulyango gw’eggulu muggule eri bonna, ddala eri abo abalikkiriza erinnya lya Yesu Kristo, oyo nga ye mwana wa Katonda.

29 Weewaawo, tulaba nti buli yenna ayagala asobola okwekwata ekigambo kya Katonda, ekiramu era eky’amaanyi, ekijja okuzikiriza obukuusa bwonna n’emitego n’okwekobaana okwa setaani, era akulemberemu omusajja wa Kristo mu kkubo ery’akanyigo era effunda okusomoka ekiwonvu ekyo eky’olubeerera eky’ennaku ekitegekeddwa okuzingirizzaamu ababi;

30 Era kituuse emyoyo gyabwe, weewaawo, emyoyo gyabwe egitafa, ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda mu bwakabaka obw’omu ggulu, okutuula ne Ibulayimu, ne Isaaka, era ne Yakobo, ne bajjajjaffe bonna abatukuvu, obutaddamu kufuluma.

31 Era mu mwaka guno waaliwo okusanyuka okutasalako mu nsi y’e Zalakemula, era ne mu bitundu byonna ebyetooloddewo, ddala ne mu nsi yonna eyali ey’Abaneefi.

32 Era olwatuuka waaliwo emirembe n’essanyu ery’amaanyi ennyo mu kitundu ekyali ekisigadde eky’omwaka ogw’amakumi ana mu omwenda; weewaawo, era ate waaliwo emirembe egitatadde n’essanyu eringi mu mwaka ogw’amakumi ataano ogw’obufuzi bw’abalamuzi.

33 Era mu mwaka ogw’amakumi ataano mu ogumu ogw’obufuzi bw’abalamuzi nagwo gwalimu emirembe, okuggyako amalala agaatandika okusensera ekkanisa; si mu kkanisa ya Katonda, wabula mu mitima gy’abantu abeeyitanga ab’ekkanisa ya Katonda;

34 Era beekulumbaza mu malala, ddala ne bayigganya baganda baabwe bangi. Era kino kyali kibi kinene nnyo, ekyaleetera ekitundu ky’abantu abasinga okuba abeetoowaze okuyigganyizibwa okw’amaanyi, n’okuyita mu bibonoobono eby’amaanyi.

35 Naye baasiiba era n’okusabanga bulijjo, ne beeyongera amaanyi mu bwetoowaze bwabwe, n’okunywera ne banywerera ddala mu kukkiriza kwa Kristo, okutuusa okujjuza emyoyo gyabwe n’essanyu n’okubudaabudibwa, weewaawo, ddala okulongosebwa n’okutukuzibwa kw’emitima gyabwe, okutukuzibwa okwo okujja olw’okuwaayo emitima gyabwe eri Katonda.

36 Era olwatuuka omwaka ogw’amakumi ataano mu ebiri ne guggwako mu mirembe nagwo, okuggyako amalala amangi ennyo agaali gasensedde emitima gy’abantu; era kyava ku bugagga bwabwe obususse n’enkulaakulana yaabwe mu nsi; era gaakula ne geeyongera mu bo lunaku ku lunaku.

37 Era olwatuuka mu mwaka ogw’amakumi ataano mu esatu ogw’obufuzi bw’abalamuzi, Keramani yafa, era mutabani we omukulu Neefi yatandika okufuga mu kifo kye. Era olwatuuka yatuula ku ntebe ey’obulamuzi n’obwenkanya era n’obutekubiira; weewaawo, yakuuma ebiragiro bya Katonda, era yatambuliranga ku mpisa za kitaawe.