Scriptures
Keramani 7


obunnabbi bwa neefi, mutabani wa keramani; Katonda alabula abantu be Neefi nti ajja kubakyalira mu busungu bwe, eri okusaanyizibwawo kwabwe okw’amaanyi ennyo okuggyako nga beenenyeza obubi bwabwe. Katonda abonereza abantu be Neefi ne kawumpuli; beenenya era ne badda gyali. Samwiri, Omulamani, awa obunnabbi eri Abaneefi.

Kirimu essuula 7 okutuuka ku 16.

Essuula 7

Neefi agaanibwa mu bukiikakkono era n’addayo e Zalakemula; Asabira ku munaala ogwali mu lusuku lwe era n’oluvannyuma n’akoowoola abantu okwenenya oba okusaanawo. Nga mu mwaka gwa 23–21 nga Kristo tannazaalibwa.

Laba, Kaakano olwatuuka mu mwaka ogw’enkaaga mu omwenda ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu b’Abaneefi, olwo Neefi, mutabani wa Keramani, yaddayo mu nsi ya Zalakemula okuva mu nsi ey’ebukiikakkono.

Kubanga yali mu bantu abaali mu nsi ey’ebukiikakkono, era y’abuulira ekigambo kya Katonda gye bali, era y’awa obunnabi ku bintu bingi gye bali;

Era baagaana ebigambo bye byonna, ddala okutuuka nti yali tasobola kusigala mu bo, wabula yaddayo nate mu nsi ye ey’obuzaaliranwa.

Era okulaba abantu mu mbeera ey’obubi obw’entiisa bwe butyo, n’abanyazi ba Gadiyantoni abo nga batudde ku ntebe ez’obulamuzi; oluvannyuma lw’okuwamba obukulu n’obuyinza obw’ensi; nga batadde ku bbali ebiragiro bya Katonda, era nga tebatuukiridde wadde n’akatono mu maaso ge; obutakola bwenkanya eri abaana b’abantu;

Nga bavumirira abatuukirivu olw’obutuukirivu bwabwe; nga baleka abazzi b’emisango n’ababi okugenda nga tebabonerezeddwa olw’ensimbi zaabwe; era n’ekirala ne bateekebwa mu bifo eby’obukulembeze mu bufuzi, okufuga n’okukola nga bwe baagala, olwo basobole okufuna obugagga n’ebitiibwa eby’ensi, era, n’okusingawo, basobole okwanguyirwa okwenda, n’okubba, n’okutta, era n’okukola byonna okusinziira ku kwagala kwabwe;

Kaakano ebibi bino ebingi byali butuuse ku Baneefi, mu bbanga ery’emyaka egitaali mingi; era Neefi bwe yakiraba, omutima gwe gwennyamira olw’ennaku munda mu kifuba kye; era yewunaganya mu bulumi obw’emmeeme ye:

Wattu, kale singa nnali wa biseera biri mu biro kitange Neefi lwe yasookera ddala okuva mu nsi y’e Yerusaalemi, awo nnalisanyukidde wamu naye mu nsi ensuubize; mu biro ebyo abantu be baali bakolaganika nabo, nga banywevu mu kukuuma ebiragiro bya Katonda, era nga si bangu bakukyamya mu kukola obubi; era baali bangu okuwuliriza ebigambo bya Mukama;

Weewaawo, singa ennaku zange zaali mu biro ebyo, olwo emmeeme yange yandibadde n’essanyu mu butuukirivu bwa baganda bange.

Naye laba, ndabye nnyo nti bino bye biro byange, era emmeeme yange egenda kujjula ennaku olw’obubi buno obwa baganda bange.

10 Era laba, Kaakano olwatuuka kyabeerawo ku munaala, ogwali mu lusuku lwa Neefi, olwali ku luguudo olunene olwali lugenda mu katale akakulu, akaali mu kibuga ky’e Zalakemula; n’olwekyo, Neefi yali avunnamye ku munaala ogwali mu lusuku lwe, nga omunaala ogwo gwali kumpi n’omulyango gw’olusuku ogwali gugenda ku luguudo olunene.

11 Era olwatuuka waliwo abasajja abamu abaali bayitawo ne balaba Neefi bwe yali ng’awaayo emmeeme ye eri Katonda ku munaala; era badduka ne babuulira abantu bye baali balabye, era abantu bajjira wamu mu bungi basobole okumanya ekyali kiviiriddeko okukungubaga okw’amaanyi ennyo olw’obubi bw’abantu.

12 Era kaakano, Neefi bwe yasituka n’alaba enkuyanja y’abantu abaali bakuŋŋaanidde awamu.

13 Era olwatuuka yayasamya akamwa ke n’abagamba nti: Laba, lwaki mukuŋŋaanidde awamu? Nti ndyoke mbabuulire ku bibi byammwe?

14 Weewaawo, olw’okuba nyambuse waggulu ku munaala gwange nsobole okuwaayo emmeeme yange eri Katonda wange, olw’ennaku esukkiridde ey’omutima gwange, evudde ku bibi byammwe!

15 Era olw’ebiwoobe byange n’okukungubaga mukuŋŋaanidde wamu, era mwewuunya; weewaawo, era mulina ensonga enkulu ennyo okwewuunya; weewaawo, musaanidde okwewuunya kubanga muweereddwayo mu ngeri nti setaani afunye obuyinza obw’amaanyi ennyo ku mitima gyammwe.

16 Weewaawo, muyinza mutya okuba nga mwewaddeyo eri okusikirizibwa kw’oyo anoonya okusuula emyoyo gyammwe wansi mu nnaku ey’olubeerera n’ebiwoobe ebitaggwawo?

17 Wattu mwenenye mmwe, mwenenye mmwe! Lwaki mulina okufa? Mukyuke, mukyuke mudde eri Mukama Katonda wammwe. Lwaki abalesewo?

18 Kiri olw’okuba mukakanyazza emitima gyammwe; weewaawo, mulemeddwa okuwuliriza eddoboozi ly’omusumba omulungi; weewaawo, mumusonsezza okubanyiigira.

19 Era laba, mu kifo ky’okubakuŋŋaanya, okuggyako nga muneenenya, laba, alibasaasaanya nti mulifuuka ennyama eri embwa n’ensolo ez’omu nsiko.

20 Wattu, muyinza mutya okuba nga mwerabidde Katonda wammwe mu lunaku lwennyini lw’abanunudde?

21 Naye laba, olw’okunoonya eby’enfuna, okutenderezebwa abantu, weewaawo, era olwo musobole okufuna zaabu ne ffeeza. Era mutadde emitima gyammwe ku bugagga n’ebintu ebitaliimu nsa eby’ensi eno, ebyo bye mutemulira, n’okunyaga, n’okubba, n’okuwaayiriza baliraanwa bammwe, era ne mukola ebibi eby’engeri zonna.

22 Era olw’ensonga eno zibasanze mmwe okuggyako nga munenenya. Kubanga bwe mutenenye, laba, ekibuga kino eky’amaanyi, era n’ebibuga ebyo byonna eby’amaanyi ebyetolooddewo, ebiri mu nsi yaffe, biritwalibwa nga olwo temuliba na kifo mu byo; kubanga laba, Mukama tajja kubawa maanyi, nga bw’akoze okutuusa kaakano, okubawanguza abalabe bammwe.

23 Kubanga laba, bw’atyo bw’ayogera Mukama: Sijja kulaga babi maanyi gange, kabeere wadde omu ku bo, okuggyako eri abo abeenenya ebibi byabwe, era ne bawuliriza ebigambo byange. Kaakano n’olwekyo, nnandyagadde mulabe, baganda bange, nti kiribeera kirungiko eri Abalamaani okusinga mmwe okuggyako bwe muneenenya.

24 Kubanga laba, batuukirivu n’okubasinga, kubanga tebonoonye eri okumanya okwo okungi nga mmwe kwe mufunye; n’olwekyo Mukama ajja kubeera wakisa gye bali; weewaawo, ajja kuwanvuya ennaku zaabwe era ayazze ezadde lyabwe, ddala ne bwe munabeera nga muzikiriziddwa okuggyako bwe muneenenya.

25 Weewaawo, zibasanze mmwe olw’ekivve kino ekinene ekizze mu mmwe; era ne mwegatta ku kyo, weewaawo, ku kibinja ekyo eky’ekyama ekyatandikibwawo Gadiyantoni!

26 Weewaawo, ziriba zibasanze olw’amalala ago ge mukkirizza okusensera emitima gyammwe, agabawaganyazza okusukkirira ku ekyo ekirungi olw’obugagga bwammwe obungi ennyo!

27 Weewaawo, zibasanze mmwe olw’obubi bwammwe n’emizizo.

28 Era okuggyako nga mwenenyezza mulizikirira; weewaawo, ddala n’ensi zammwe ziribaggibwako, era mulizikirizibwa okuviira ddala ku lukalu lw’ensi.

29 Laba kaakano, ssigamba nti ebintu bino birituukirira, ku lwange, kubanga ebintu bino sibitegedde ku lwange; naye laba, nkimanyi nti ebintu bino bituufu kubanga Mukama Katonda y’abimmannyisiza, n’olwekyo njulira nti birituukirira.