Essuula 11
Neefi yeegayirira Mukama okuwaanyisa olutalo lwabwe n’enjala; Abantu bangi bazikirira; Beenenya, era Neefi yeegayirira Mukama olw’enkuba; Neefi ne Leki bafuna okubikkulirwa okungi; Abanyazi ba Gadiyatoni basimba amakanda mu nsi. Nga mu mwaka gwa 20–6 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era kaakano olwatuuka mu mwaka ogw’ensanvu mu ebiri ogw’obufuzi bw’abalamuzi, enkaayana zeeyongera obungi, ddala okutuusa nti waabaawo entalo mu nsi yonna mu bantu bonna aba Neefi.
2 Era kyali ekibinja kino eky’ekyama eky’abanyazi abagenda mu maaso n’omulimu guno ogw’okuzikiriza n’obubi. Era olutalo luno lwamala omwaka ogwo gwonna; era ne mu mwaka ogw’ensanvu mu esatu nagwo lwaliwo.
3 Era olwatuuka mu mwaka guno Neefi yawanjagira Mukama ng’agamba nti:
4 Ayi Mukama, toleka bantu bano kuzikirizibwa na kitala; naye Ayi Mukama, wakiri leka wabeerewo enjala mu nsi, okubasiikuula okujjukira Mukama Katonda waabwe, oba oli awo baneenenya ne badda gy’oli.
5 Era bwe kityo bwe kyakolebwa, okusinziira ku bigambo bya Neefi. Era waaliwo enjala ey’amaanyi ku nsi, mu bantu bonna aba Neefi. Era bwe kityo mu mwaka ogw’ensanvu mu ena enjala yeeyongera, era n’omulimu gw’okuzikirizibwa n’ekitala gwali gukomye naye gwasajjuka olw’enjala.
6 Era omulimu guno ogw’okuzikirizibwa gwagenda mu maaso mu mwaka ogw’ensanvu mu etaano. Kubanga ensi yagibonereza nti yali mu kyeya, era teyabala mmere ya mpeke mu biseera eby’emmere ey’empeke; era ensi yonna n’ebonerezebwa, ddala ne mu Balamani awamu ne mu Baneefi, bwe batyo baabonerezebwa mu ngeri nti baazikirizibwa enkumi n’enkumi mu bitundu eby’ensi ebyali bisinga okubaamu abonoonyi.
7 Era olwatuuka abantu baakiraba nga banaatera okuzikirizibwa enjala, era baatandika okujjukira Mukama Katonda waabwe; era baatandika okujjukira ebigambo bya Neefi.
8 Era abantu baatandika okwegayirira abalamuzi baabwe ab’oku ntikko n’abakulembeze baabwe, olwo bagambe Neefi nti: Laba, tukimanyi nti oli musajja wa Katonda, era n’olwekyo wanjagira Mukama Katonda waffe atuggirewo enjala eno, kale bwe kityo nga ebigambo byonna by’oyogedde ebikwata ku kuzikirizibwa kwaffe tebituukirira.
9 Era olwatuuka abalamuzi baagamba Neefi, okusinziira ku bigambo ebyali byettanirwa. Era olwatuuka Neefi bwe yalaba ng’abantu beenenyezza era n’okwetoowaza nga bambala ebibukutu, yawanjaga nate eri Mukama ng’agamba nti:
10 Ayi Mukama, laba abantu bano beenenya; era beegobyeko ekibinja kya Gadiyantoni okuva mu bo ddala okutuusa nti kisaanyewo, era kiziise enteekateeka zaabwe ez’ekyama mu ttaka.
11 Kaakano, Ayi Mukama, olw’obwetoowaze bwabwe on’akyusa obusungu bwo, era n’oleka obusungu bwo bunogaanyizibwe mu kuzikirizibwa kw’abasajja abo ababi b’omaze okuzikiriza.
12 Ayi Mukama, on’akyusa obusungu bwo, weewaawo, obusungu bwo obw’entiisa, era olagire enjala eno esobole okuggwawo mu nsi eno.
13 Ayi Mukama, onampuliriza, olagire kikolebwe okusinziira ku bigambo byange, era osindike enkuba etonnye ku lukalu lw’ensi, eryoke ebale ebibala byayo, era n’empeke zaayo mu kiseera ky’emmere ey’empeke.
14 Ayi Mukama, wawuliriza ebigambo byange bwe nnagamba nti, Kawabeewo enjala, olwo kawumpuli ow’ekitala alyoke akome; era mmanyi nti ojja kukikola, ddala mu kiseera kino, okuwuliriza ebigambo byange, kubanga wagamba nti: Singa abantu bano beenenya nnaabataliza.
15 Weewaawo, Ayi Mukama, era olaba nti benenyezza, olw’enjala ne kawumpuli n’okuzikirizibwa ebibatuuseeko.
16 Era kaakano, Ayi Mukama, on’aggyawo obusungu bwo, n’ogezezza nate singa banaakuweereza? Era bwe kiba bwe kityo, Ayi Mukama, oyinza okubawa omukisa okusinziira ku bigambo byo bye wayogera.
17 Era olwatuuka mu mwaka ogw’ensanvu mu omukaaga Mukama yaggyawo obusungu bwe okuva ku bantu, era n’asobozesa enkuba okutonnya ku nsi, ddala okutuusa nti yabala ebibala byayo mu kiseera ky’ebibala byayo. Era olwatuuka yabala empeke zaayo mu kiseera ky’emmere y’empeke zaayo.
18 Era laba, abantu baasanyuka ne bagulumiza Katonda, era olukalu lw’ensi lwonna lwajjula essanyu; era tebaddamu kunoonya kuzikiriza Neefi, wabula baamutwala nga nnabbi ow’amaanyi, era omusajja wa Katonda, ng’alina amaanyi amangi n’obuyinza ebyamuweebwa okuva eri Katonda.
19 Era laba, Leki, muganda we, teyamuleka mabega wadde n’akatono mu bintu ebyekuusa ku butuukirivu.
20 Era bwe kityo bwe kyatuuka nti abantu ba Neefi baatandika okukulaakulana nate mu nsi, era baatandika okuzimba ebifo byabwe ebyononefu, era baatandika okweyongera n’okusaasaana, ddala okutuusa lwe baabuna olukalu lw’ensi, wonna oluuyi olw’ebukiikakkono ne ku luuyi olw’ebukiikaddyo, okuva ku nnyanja ey’ebugwanjuba okutuuka ku nnyanja ey’ebuvanjuba.
21 Era olwatuuka omwaka ogw’ensanvu mu omukaaga gwaggwako mu mirembe. Era n’omwaka ogw’ensanvu mu omusanvu gwatandika mu mirembe; era ekkanisa yabuna mu nsi yonna; era ekitundu ekisinga obungi eky’abantu, bombi Abaneefi n’Abalamani, baali ba kkanisa; era baafuna emirembe egitagambika mu nsi; era bwe gutyo omwaka ogw’ensanvu mu omusanvu bwe gwaggwako.
22 Era ate baalina emirembe mu mwaka ogw’ensanvu mu omunaana, okuggyako enkaayana entonotono ku nsonga ez’enjigiriza ezaali ziteekeddwawo bannabbi.
23 Era mu mwaka ogw’ensanvu mu omwenda watandika okubaawo okuyomba okungi. Naye olwatuuka Neefi ne Leki, era ne baganda baabwe bangi abaali bamanyi ebikwata ku nsonga ez’amazima ez’enjigiriza, nga baalina okubikkulirwa okungi buli lunaku, n’olwekyo baabuulira abantu, okukkakkana nti bassa ekkomo ku nkaayana zaabwe mu mwaka ogwo gwe gumu.
24 Era olwatuuka mu mwaka ogw’ekinaana ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi, waaliwo omuwendo ogw’ekigero ogwa bakyewaggula okuva mu bantu ba Neefi, abo abaali beegasse ku Balamani emyaka egy’emabegako, era nga beetuuma bo bennyini erinnya ly’Abalamani, era n’omuwendo ogw’ekigero ogw’abo abaali abazzukulu b’Abalamani abatuufu, nga basiikuddwa bo obusungu, oba abo bakyewaggula, n’olwekyo baatandika olutalo ku baganda baabwe.
25 Era baakola ettemu n’okunyaga; era olwo nga baddayo emabega mu nsozi, era ne mu lukoola ne mu bifo eby’ekyama, nga beekweka baleme okuzuulibwa, nga buli lunaku bafuna okwongerwako ku muwendo gwabwe, kasita wabeerangawo bakyewaggula abagendanga gye bali.
26 Era bwe batyo mu kiseera, weewaawo, ddala mu bbanga eritali lya myaka mingi, baafuuka ekibinja ekinene ennyo eky’abanyazi; era ne banoonyereza ku nteekateeka zonna ez’ekyama eza Gadiyantoni; era bwe batyo baafuuka abanyazi ba Gadiyantoni.
27 Kaakano laba, abanyazi bano baakola obulabe obw’amaanyi, weewaawo, ddala okuzikirizibwa okw’amaanyi mu bantu ba Neefi, era ne mu bantu b’Abalamani.
28 Era olwatuuka kyali kyetaagisa okuteeka ekkomo ku mulimu guno ogw’okuzikiriza; n’olwekyo baasindika eggye ly’abasajja ab’amaanyi mu lukoola ne ku nsozi okunoonyereza ekibinja kino eky’abanyazi, era n’okubazikiriza.
29 Naye laba, olwatuuka mu mwaka ogwo gwe gumu ne bagobebwa okuddirayo ddala mu nsi zaabwe. Era bwe gutyo omwaka ogw’ekinaana bwe gwaggwako ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi.
30 Era olwatuuka ku ntandikwa y’omwaka ogw’ekinaana mu ogumu baagenda nate okulwanyisa ekibinja kino eky’abanyazi, era baazikiriza bangi; era nabo baatuusibwako okuzikirizibwa kungi.
31 Era baawalirizibwa nate okukomawo okuva mu lukoola n’okuva mu nsozi okuddayo mu nsi zaabwe, olw’obungi obuyitiridde obw’omuwendo gw’abanyazi abo abaali beefuze ensozi n’olukoola.
32 Era olwatuuka bwe gutyo omwaka guno bwe gwaggwako. Era abanyazi beeyongera obungi ne bafuuka b’amaanyi, ddala okutuusa nti baalemesa amagye ag’Abaneefi gonna, era n’ag’Abalamani; era baleetawo okutya okungi okujja mu bantu ku lukalu lw’ensi yonna.
33 Weewaawo, kubanga baatalaaga ebitundu bingi eby’ensi, era ne babakolako okuzikirizibwa okw’amaanyi; weewaawo, batta bangi, ne batwala n’abalala mu buwambe mu lukoola, weewaawo, era okusingira ddala abakazi baabwe n’abaana baabwe.
34 Kaakano ekibi kino ekinene, ekyajja eri abantu olw’obwonoonefu bwabwe, kyabasiikuula nate mu kujjukira Mukama Katonda waabwe.
35 Era bwe gutyo bwe gwaggwako omwaka ogw’ekinaana mu ogumu ogw’obufuzi bw’abalamuzi.
36 Era mu mwaka kinaana mu ebiri baatandika nate okwerabira Mukama Katonda waabwe. Era mu mwaka ogw’ekinaana mu esatu baatandika okufuuka ab’amaanyi mu bibi. Era mu mwaka ogw’ekinaana mu ena tebaakyusa nneeyisa yaabwe.
37 Era olwatuuka mu mwaka ogw’ekinaana mu etaano bafuuka b’amaanyi mu malala gaabwe, era ne mu bubi bwabwe; era bwe batyo baali bengererera nate eri okuzikirizibwa.
38 Era bwe gutyo omwaka gw’ekinaana mu etaano bwe gwaggwako.