Ekitabo kya Keramani
Ennyinnyonyolwa y’Abaneefi. Entalo zaabwe n’ennyombo zaabwe, era n’obutakkaanya bwabwe. Era ate n’obunnabbi bwa bannabbi abatukuvu bangi, nga Kristo tannajja, okusinziira ku biwandiiko bya Keramani, eyali mutabani wa Keramani, era ate okusinziira ku biwandiiko bya batabani be, okutuukira ddala ku kujja kwa Kristo. Era ate bangi ku Balamani bakyusibwa. Ennyinnyonyolwa ey’okukyusibwa kwabwe. Ennyinnyonyolwa ey’obutuukirivu bw’Abalamani, era n’obubi n’ebizira eby’Abaneefi, okusinziira ku kiwandiiko kya Keramani ne batabani be, okutuukira ddala ku kujja kwa Kristo, ekiyitibwa ekitabo kya Keramani, n’ebirala.
Essuula 1
Pakolani ow’okubiri afuuka ssaabalamuzi era attibwa Kisikumeni; Pakumeni atuuzibwa ku ntebe ey’obulamuzi; Koliyantama akulembera amagye g’Abalamani, awamba Zalakemula, era atta Pakumeni; Molonayika awangula Abalamani ne yeddiza Zalakemula, era Koliyatama attibwa. Nga mu mwaka gwa 52–50 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era kaakano laba, olwatuuka ku ntandikwa y’omwaka ogw’amakumi ana ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri bantu ba Neefi, awo ne watandika okubaawo obuzibu obw’amaanyi mu bantu b’Abaneefi.
2 Kubanga laba, Pakolani yali afudde, era ng’agenze mu kkubo eriyingira ettaka; n’olwekyo awo waatandikawo enkaayana ey’amaanyi ku bikwata ku ani alina okubeera mu ntebe ey’obulamuzi wakati w’ab’oluganda, abaali batabani ba Pakolani.
3 Kaakano gano ge mannya gaabwe abaakayanira entebe y’obulamuzi, abaaviirako ate abantu okukaayana: Pakolani, Paanki, ne Pakumeni.
4 Kaakano bano si be batabani ba Pakolani bonna (kubanga yalina bangi), naye bano be baakayanira entebe y’obulamuzi; n’olwekyo, baaviirako obubinja busatu okumerukawo mu bantu.
5 Wadde nga kyali kityo, olwatuuka Pakolani y’alondebwa eddoboozi ly’abantu okubeera ssaabalamuzi era omufuzi eri abantu ba Neefi.
6 Era olwatuuka Pakumeni, bwe yalaba nga tasobola kufuna entebe ey’obulamuzi, yeegatta ku ddoboozi ly’abantu.
7 Naye laba, Paanki, era n’ekitundu ekyo eky’abantu abaali baagala abeere omufuzi waabwe, baali basunguwavu nnyo; n’olwekyo, yali anaatera okuwaaniriza abantu abo abasikirize basitukire mu bujeemu eri baganda baabwe.
8 Era olwatuuka bwe yali anaatera okukola kino, laba, yatwalibwa, n’avunaanibwa okusinziira ku ddoboozi ly’abantu, n’asalirwa omusango ogw’okufa; kubanga yali asitukidde mu bujeemu ng’anoonya okusaanyaawo eddembe ly’abantu.
9 Kaakano abantu abo abaali baagala abeere omufuzi waabwe bwe baalaba ng’asaliddwa omusango ogw’okufa, n’olwekyo baali basunguwavu, era laba, ne basindika omu ayitibwa Kisukumeni, ddala eri entebe ey’obulamuzi eya Pakolani, era n’atemula Pakolani bwe yali ng’atudde ku ntebe ey’obulamuzi.
10 Era yawonderwa abaweereza ba Pakolani; naye laba, nga yali ya bwangu nnyo enziruka ya Kisikumeni nti tewaali muntu yenna yali asobola kumutuukako.
11 Era yagenda eri abo abaamutuma, era bonna ne balagaana endagaano, weewaawo, nga balayira eri Omutonzi waabwe ow’olubeerera, nti tebajja kubuulira muntu yenna nti Kisikumeni yali asse Pakolani.
12 N’olwekyo, Kisikumeni yali tamanyiddwa mu bantu ba Neefi, kubanga yali yeefuddefudde mu kaseera we yatemulira Pakolani. Era Kisikumeni n’ekibinja kye, abaali balagaanye naye, beetabula mu bantu, mu ngeri nti kyali kizibu okubazuula bonna; naye abo bonna abaasangibwanga baasalirwanga omusango gwa kufa.
13 Era kaakano, laba, Pakumeni yalondebwa, okusinziira ku ddoboozi ly’abantu, okubeera ssaabalamuzi era omufuzi w’abantu, okufuga mu kifo kya muganda we Pakolani; era kwasinziira ku ddembe lye ery’obusika. Era bino byonna byakolebwa mu mwaka ogw’amakumi ana ogw’obufuzi bw’abalamuzi; era gwatuuka ku nkomerero.
14 Era olwatuuka mu mwaka ogw’amakumi ana mu ogumu ogw’obufuzi bw’abalamuzi, olwo Abalamani baali bakuŋŋaanyizza eggye ly’abasajja eritabalika, ne babakwasa ebitala, n’ebyambe n’emitego, n’obusaale, ne ssepeewo ez’abalwanyi, era n’ebyambalo ebyomubifuba, era n’engabo ez’engeri zonna eza buli kika.
15 Era baaserengeta nate basobole okulwana n’Abaneefi. Era baakulemberwa omusajja erinnya lye Koliyatama; era yali muzzukulu wa Zalakemula; era yali kyewaggula okuva mu Baneefi; era yali musajja wa kiwago era ow’amaanyi.
16 N’olwekyo, kabaka w’Abalamani, erinnya lye eryali Tubalosi, eyali mutabani wa Amolooni, yalowooza nti Koliyatama, okubeera omusajja ow’amaanyi, yali asobola okuyimirirawo n’alwanyisa Abaneefi, n’amaanyi ge n’amagezi ge amangi ennyo, ddala okutuusa nti mu kumuweerezzaayo yali asobola okufuna obuyinza ku Baneefi;
17 N’olwekyo yabasiikuula obusungu, era n’akuŋŋaanya amaggye ge, era n’alonda Koliyatama okubeera omukulembeze waabwe, era y’alagira baserengete mu nsi y’e Zalakemula okulwana n’Abaneefi.
18 Era olwatuuka olw’enkaayana ennyingi n’obuzibu obungi mu bufuzi, olwo ne kiba nti baali tebalesseeyo bakuumi bamala mu nsi y’e Zalakemula; kubanga baali balowoozezza nti Abalamani tebetantale kujja mu bitundu ebikulu eby’ensi zaabwe okulumba ekibuga ekyo eky’amaanyi Zalakemula.
19 Naye olwatuuka Koliyatama yakulemberamu eggye lye eddene, n’ajja mu batuuze b’ekibuga, era entambula yaabwe yali ya bwangu obusukkiridde ennyo nti Abaneefi tebaafuna budde bukuŋŋaanyiza wamu magye gaabwe.
20 N’olwekyo Koliyatama yatemaatema omukuumi eyali ku mulyango gw’ekibuga, era n’ayingira n’eggye lye lyonna mu kibuga, era baatematema buli omu eyabawakanyanga, ddala okutuusa nti bezza ekibuga kyonna.
21 Era olwatuuka Pakumeni, eyali ssaabalamuzi, y’adduka okuviira Koliyatama, ddala okutuuka ku bbugwe w’ekibuga. Era olwatuuka Koliyatama yamutemera ku kisenge, okukkakana ng’afudde. Era bwe zityo ennaku za Pakumeni bwe zaakoma.
22 Era kaakano Koliyatama bwe yalaba nga yaali mu buyinza bw’ekibuga Zalakemula, era n’alaba ng’Abaneefi badduse okuva mu maaso gaabwe, era nga battiddwa, era nga batwaliddwa, era nga basuuliddwa mu kkomera, era nga yali yezizza ekifo ekyali kikyasinze okubeera n’obukuumi obw’amaanyi mu nsi yonna, omutima gwe gwaguma ddala okutuusa nti yali anaatera okugenda okulumba ensi yonna.
23 Era kaakano teyasigala mu nsi y’e Zalakemula, naye yatambula n’eggye eddene, ddala n’ayolekera ekibuga Kyengera; kubanga bwali bumalirivu bwe okugenda atemeteme ekkubo lye n’ekitala, asobole okufuna ebitundu by’ensi eby’omu bukiikakkono.
24 Era, nga alowooza nti amaanyi gaabwe agasinga gaali mu masekkati g’ensi, n’olwekyo yatambula, nga tabawa budde kukuŋŋaana wamu okuggyako nga baali mu bibinja bitono; era mu ngeri eno baabalumba ne babatemaatema ne bagwa ku ttaka.
25 Naye laba, okutambula kuno okwa Koliyatama ng’ayita masekkati g’ensi kwawa Molonayika enkizo ey’amaanyi ku bo, ng’oggyeko omuwendo omunene ogw’Abaneefi abattibwa.
26 Kubanga laba, Molonayika yali alowoozezza nti Abalamani tebetantale kujja mu masekkati g’ensi, wabula nti bajja kulumba ebibuga ebyetoolodde ku nsalo nga bwe bazze nga bakola; n’olwekyo Molonayika yali alagidde amagye gaabwe ag’amaanyi okukuuma ebitundu ebyo okwetooloola ensalo.
27 Naye laba, Abalamani baali tebatidde nga bwe yali ayagala, naye baali bazze mu masekkati g’ensi, era baali bawambye ekibuga ekikulu ekyali ekibuga Zalakemula, era nga batambula okuyita mu bitundu ebisinga obukulu eby’ensi, nga batta abantu mu nzita ey’amaanyi, wamu abasajja, abakazi, n’abaana, nga bwe bawamba ebibuga bingi n’ebigo bingi.
28 Naye Molonayika bwe yakizuula, amangu ago n’atuma Leki n’eggye okwetooloolawo okubataayiza nga tebannatuuka mu nsi Kyengera.
29 Era bw’atyo bwe yakola; era yabataayiza nga tebannatuuka mu nsi Kyengera, era n’abakolako olutalo, ddala okutuusa nti baatandika okudda emabega okwolekera ensi y’e Zalakemula.
30 Era olwatuuka Molonayika n’abataayiza nga badda emabega, n’abakolako olutalo, okukkakana nga lufuuse olutalo olw’omusaayi oguyitiridde; weewaawo, bangi battibwa, era mu muwendo gw’abattibwa Koliyatama naye mwe yasaangibwa.
31 Era kaakano, laba, Abalamani baali tebasobola kudda mabega ku njuyi zonna, si bukiikakkono, newakubadde obukiikaddyo, si buvanjuba, newakubadde ebugwanjuba, kubanga baali beetooloddwa Abaneefi ku buli mukono.
32 Era bw’atyo Koliyatama yali asudde Abalamani wakati mu Baneefi, okukkakana nti baali mu buyinza bw’Abaneefi, era ye yennyini yattibwa, era Abalamani ne beewaayo mu mikono gy’Abaneefi.
33 Era olwatuuka Molonayika yeddiza nate ekibuga Zalakemula, n’alagira Abalamani abaali batwaliddwa nga basibe bave mu nsi mu mirembe.
34 Era bwe gutyo bwe gwaggwako omwaka ogw’amakumi ana mu gumu ogw’obufuzi bw’abalamuzi.