Scriptures
Keramani 12


Essuula 12

Abantu si banywevu era basirusiru era banguyiriza nnyo okukola ebibi; Mukama akangavvula abantu be; Obutaliimu bw’abantu bugeraageranya n’amaanyi ga Katonda; Ku lunaku olw’okulamulwa, abantu balifuna obulamu obutaggwaawo oba balikomezebwa olubeerera. Nga mu mwaka gwa 6 nga Kristo tannazaalibwa.

Era bwe tutyo tulaba engeri ey’obulimba, era n’obutali bunywevu obw’emitima gy’abaana b’abantu; weewaawo, tusobola okulaba nti Mukama mu bulungi bwe obungi obutakoma awa omukisa n’okukulaakulanya abo abamwesiga.

Weewaawo, era twandiraba nti mu kiseera kyennyini lw’alikulaakulanya abantu be, weewaawo, mu kweyongera kw’ennimiro zaabwe, ebisibo byabwe n’amagana gaabwe, ne mu zaabu, ne mu ffeeza, era ne mu bintu byonna eby’omuwendo ebya buli ngeri eza buli kika n’enkola; ng’ awonya obulamu bwabwe, n’okubanunula mu mikono gy’abalabe baabwe; ng’agonza emitima gy’abalabe baabwe olwo baleme okulangirira entalo gye bali; weewaawo, era mu bufunze, ng’akola ebintu byonna olw’obulungi n’essanyu ly’abantu be; weewaawo, awo kye kiseera kye bakakanyalizaamu emitima gyabwe, era ne beerabira Mukama Katonda waabwe, era ne balinnyirira wansi w’ebigere byabwe Omutukuvu, weewaawo, era kino olw’okugonzebwa embeera yaabwe, n’enkulaakulana yaabwe ey’amaanyi ennyo.

Era bwe tutyo tulaba nti okuggyako Mukama nga akangavvudde abantu be n’ebibonoobono ebingi, weewaawo, okuggyako nga abakyalira n’okufa n’entiisa, era n’enjala ne kawumpuli ow’engeri zonna, tebajja kumujjukira.

Wattu nga basirusiru, era nga bakulumbavu, era nga babi, era aba setaani, era nga banguwa okukola ebibi, era nga basooba okukola ebirungi, abaana b’abantu; weewaawo, nga banguwa okuwuliriza ebigambo by’omubi oyo, era n’okuteeka emitima gyabwe ku bintu by’ensi ebitaliimu nsa!

Weewaawo, nga banguwa okuyimusibwa mu malala; weewaawo, nga banguwa okwegulumiza, era n’okukola ebibi ebyo eby’engeri zonna; era nga basooba okujjukira Mukama Katonda waabwe, era n’okutega okutu eri okuteesa kwe, weewaawo, nga basooba okutambulira mu makubo ag’amagezi!

Laba, tebaagala Mukama Katonda waabwe, eyabatonda, abalagire n’okubafuga; newakubadde ng’obulungi bwe n’okusaasira kwe okungi gye bali, banyooma okuluŋŋamizibwa kwe, era tebaagala abeere muwabuzi waabwe.

Kale obutaliimu bw’abaana b’abantu nga bw’amaanyi nnyo; weewaawo, ddala tebenkanika na ku nfuufu ya nsi.

Kubanga laba, enfuufu y’ensi efuumuuka wano ne wali, eri okweyawulamu, olw’ekiragiro kya Katonda waffe ow’amaanyi era ow’olubeerera.

Weewaawo, laba olw’eddoboozi lye obutunnumba n’ensozi bijugumira n’okukankana.

10 Era olw’amaanyi g’eddoboozi lye bimementuka, era bifuuka omuseetwe, weewaawo, ddala okufaananako ekiwonvu.

11 Weewaawo, olw’amaanyi g’eddoboozi lye ensi yonna ekankana;

12 Weewaawo, olw’amaanyi g’eddoboozi lye, emisingi gy’enjazi giseeseetuka, ddala mu makkati.

13 Weewaawo, era singa agamba ensi nti; seeseetuka; eseeseetuka.

14 Weewaawo, bw’agamba ensi nti; Ojja kuddako emabega, nti ewanvuye olunaku okumala essaawa ennyingi; kikolebwa;

15 Era bwe kityo, okusinziira ku kigambo kye ensi edda emabega, era ne kirabika eri omuntu nti enjuba eri mu kifo kimu; weewaawo, era laba, kino bwe kiri; kubanga mazima ensi yetambula so si njuba.

16 Era laba, ate, bw’agamba amazzi ag’ebuziba obw’amaanyi nti; Kalira; kikolebwa.

17 Laba, singa agamba olusozi luno nti; Siggulibwa, era ojje ogwe ku kibuga ekyo, olwo kiziikibwe; laba kikolebwa.

18 Era laba, singa omuntu akweka eky’obugagga mu ttaka, era Mukama n’agamba nti; Kikolimirwe, olw’obwonoonefu bw’oyo eyakikwese; laba, kijja kukolimirwa.

19 Era singa Mukama an’agamba nti; Kolimirwa, nti tewali muntu yenna alikuzuula okuva mu kiseera kino okweyongerayo olubeerera; laba, tewali muntu yenna akifuna okuva kaakano n’olubeerera.

20 Era laba, singa Mukama an’agamba omuntu nti; Olw’obubi bwo, onakolimirwa emirembe gyonna; kinakolebwa.

21 Era singa Mukama an’agamba nti; Olw’obubi bwo onaabolebwa okuva mu maaso gange; ajja kusobozesa kibeere bwe kityo.

22 Era zimusanze oyo gw’aligamba kino, kubanga kiribeera eri oyo alikola ebibi, era tayinza kulokolebwa; n’olwekyo, olw’ensonga eno, nti abantu basobole okulokolebwa, okwenenya akulangiridde.

23 N’olwekyo, balina omukisa abo abaneenenya ne bawuliriza eddoboozi lya Mukama Katonda waabwe; kubanga bano beebo abalirokolebwa.

24 Era nsaba Katonda awe, mu bujjuvu obw’amaanyi ge, nti abantu baleetebwe mu kwenenya n’ebikolwa ebirungi, balyoke bakomezebwewo eri ekisa olw’ekisa, okusinziira ku bikolwa byabwe.

25 Era nnandyagadde abantu bonna balokolebwe. Naye tusoma nti ku lunaku olw’amaanyi era olw’enkomerero waliwo abamu abaliboolebwa, weewaawo, abaliboolebwa okuva mu maaso ga Mukama;

26 Weewaawo, abaliweebwayo mu mbeera ey’ennaku etakoma, nga kituukiriza ebigambo ebigamba nti: Abo abakoze ebirungi balifuna obulamu obutaggwaawo; era n’abo abakoze ebibi balifuna okukomezebwa okw’olubeerera. Era bwe kityo bwe kiri. Amiina.