Scriptures
Keramani 16


Essuula 16

Abaneefi abakkiririza mu Samwiri babatizibwa Neefi; Samwiri tayinza kuttibwa na busaale n’amayinja g’Abaneefi abataagala kwenenya; Abamu bakakanyaza emitima gyabwe, era abalala balaba bamalayika; Abatakkiriza bagamba nti si kya magezi okukkiririza mu Kristo n’okujja kwe e Yerusaalemi. Nga mu mwaka gwa 6–1 nga Kristo tannazaalibwa.

Era kaakano, olwatuuka waaliwo bangi abaawulira ebigambo bya Samwiri, Omulamani, bye yayogera ng’ali waggulu ku bbugwe w’ekibuga. Era bangi nga bwe bakkiririza mu kigambo kye baavaayo ne banoonya Neefi; era bwe baavaayo ne bamusanga, baayatula ebibi byabwe gy’ali era ne bateegaana, nga baagala babatizibwe olw’ekigendererwa kya Mukama.

Naye abangi nga bwe baali batakkiririza mu bigambo bya Samwiri baali banyiivu gy’ali; era ne bamukasukira amayinja ng’ali waggulu ku bbugwe, era bangi ate bamukasukira obusaale bwe yali ng’ayimiridde waggulu ku bbugwe; naye Omwoyo wa Mukama yali wamu naye, ddala okutuusa nti tebaasobola kumukuba na mayinja gaabwe wadde n’obusaale bwabwe.

Kaakano bwe baalaba nga tebasobola kumukuba, waaliwo abalala bangi abakkiririza mu bigambo bye, okukkakkana nga baveddeyo ne bagenda eri Neefi okubatizibwa.

Kubanga laba, Neefi yali abatiza, era n’okuwa obunnabi, era n’okubuulira, nga alangirira okwenenya eri abantu, ng’alaga obubonero n’ebyewuunyo, ng’akola ebyamagero mu bantu, basobole okumanya nti Kristo alina okujja mu bbanga eritaali lyawala;

Nga bababuulira ebintu ebirina okujja mu bbanga eritaali lyawala, basobole okumanya n’okujjukira mu kiseera ky’okujja kwabyo nti byali bya bategeezebwako, n’ekigendererwa nti basobole okukkiriza; n’olwekyo abangi nga bwe bakkiriza ebigambo bya Samwiri baagenda gy’ali babatizibwe, kubanga bajja beenenya n’okwatula ebibi byabwe.

Wabula ekitundu ekisinga obungi ku bo tebakkiririza mu bigambo bya Samwiri; n’olwekyo bwe baalaba nga tebayinza kumukuba n’amayinja gaabwe n’obusaale bwabwe, baakowoola abakulu baabwe ab’eggye, nga bagamba nti: Mutwale omuntu ono mumusibe, kubanga laba aliko omuzimu; era olw’amaanyi g’omuzimu oguli ku ye tetusobola kumukuba n’amayinja gaffe n’obusaale bwaffe; n’olwekyo mumutwale era mumusibe, era muveewo naye.

Era bwe baavaayo okumuteekako engalo zaabwe, laba, yeekasuka wansi okuva ku bbugwe, n’adduka okuva mu nsi zaabwe, weewaawo, ddala okudda mu nsi ye, era n’atandika okubuulira n’okuwa obunnabbi mu bantu be.

Era laba, teyaddamu kuwulirwako mu ba Neefi; era bwe zityo ensonga z’abantu bwe zaali.

Era bwe gutyo bwe gwaggwako omwaka ogw’ekinaana mu omukaaga ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi.

10 Era ate bwe gutyo n’omwaka ogw’ekinaana mu omusanvu ogw’obufuzi bw’abalamuzi bwe gwaggwako, ekitundu ekisinga obunene eky’abantu nga basigadde mu malala gaabwe n’obubi, era ekitundu ekyali kisinga obutono nga batambulira mu buwulize mu maaso ga Katonda.

11 Era ate eno ye yali embeera, mu mwaka ogw’ekinaana mu omunaana ogw’obufuzi bw’abalamuzi.

12 Era waaliwo enkyukakyuka naye entono mu nsonga z’abantu, okuggyako nti abantu baatandika okukakanyala ennyo mu bubi, era n’okwongera okukola ebyo ebyali bikontana n’ebiragiro bya Katonda, mu mwaka ogw’ekinaana mu omwenda ogw’obufuzi bw’abalamuzi.

13 Naye olwatuuka mu mwaka ogw’ekyenda ogw’obufuzi bw’abalamuzi, waaliwo obubonero obw’ekitalo obwaweebwa eri abantu, era n’ebyewuunyo, era ebigambo bya bannabbi byatandika okutuukirizibwa.

14 Era bamalayika baalabikira abantu, abasajja abagezigezi, era baalangirira gye bali amawulire amalungi ag’essanyu eringi; bwe kityo mu mwaka guno ebyawandiikibwa byatandika okubeera nga bituukirizibwa.

15 Wabula abantu baatandika okukakanyaza emitima gyabwe, bonna okuggyako ekitundu ku bo abaali basinga okukkiriza, ab’Abaneefi ate wamu n’ab’Abalamani, era baatandika okwesigama ku maanyi gaabwe era ne ku magezi gaabwe, nga bagamba nti:

16 Ebintu ebimu bandiba nga baabiteebereza mu butuufu, mu bingi ennyo; naye laba, tukimanyi nti ebikolwa bino byonna ebikulu era eby’ekitalo tebiyinza kutuukirira, ebikwata kw’ebyo ebyogeddwako.

17 Era baatandika okuwakana n’okukaayana masekkati gaabwe, nga bagamba nti:

18 Nti si kya magezi nti ekitonde ekyo nga Kristo kinajja; bwe kiba bwe kityo, era n’aba nga ye Mwana wa Katonda, Kitaffe ow’obwengula n’ensi, nga bwe kibadde kyogerwa, lwaki teyandyeyolese gye tuli era ne gye bali abo abalibeera e Yerusaalemi?

19 Weewaawo, lwaki nga aba teyeeyoleka mu nsi eno era ne mu nsi ya Yerusaalemi?

20 Naye laba, tukimanyi nti akalombolombo kano kabi, akatusikizibwa bajjajjaffe, okutuleetera okukkiririza mu kintu mbu ekikulu era ekyewuunyisa ekirina okutuukirira, naye si mu ffe, wabula mu nsi eri ewala ennyo, ensi gye tutamanyi; n’olwekyo basobole okutukuumira mu butamanya, kubanga tetusobola kubirabako na maaso gaffe nti bituufu.

21 Era basobola, olw’obukujjukujju n’ebikolwa ebikusike eby’omubi, okukola emirimu egy’amaanyi emikusike gye tutasobola kutegeera, ekijja okutukuumira wansi okubeera abaddu eri ebigambo byabwe, era ate abaddu gye bali, kubanga twesigamye ku bo okutuyigiriza ekigambo; era bwe batyo bwe bajja okutukuumira mu butamanya singa twewaayo gye bali, ennaku zonna ez’obulamu bwaffe.

22 Era n’ebintu ebirala bingi abantu bye baateebereza mu mitima gyabwe, ebyali eby’obusirusiru n’obutaliimu nsa; era baatawanyizibwa nnyo, kubanga setaani yabasiikula okukola ebibi entakera; weewaawo, yagendanga abunya eŋŋambo wonna n’enkaayana ku lukalu lw’ensi yonna, nti asobole okukakanyaza emitima gy’abantu eri ekyo ekyali ekirungi era n’eri ekyo ekirina okujja.

23 Era newakubadde nga waaliwo obubonero n’ebyewuunyo ebyalagibwa mu bantu ba Mukama, era n’ebyamagero bingi bye baakola, setaani yafunira ddala obuyinza ku mitima gy’abantu ku lukalu lw’ensi yonna.

24 Era bwe gutyo omwaka ogw’ekyenda ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi bwe gwaggwako.

25 Era bwe kityo ekitabo kya Keramani bwe kyakomekkerezebwa, okusinziira ku kiwandiiko kya Keramani ne batabani be.