Essuula 5
Neefi ne Leki bewaayo mu bumalirivu okubuulira; Amannya gaabwe gabasikiriza okutambulira mu mikululo gya bajjajjaabwe mwe babbulwa; Kristo anunula abo abeenenya; Neefi ne Leki bakyusa abantu bangi era basibibwa, era omuliro gubetooloola; Ekire eky’ekizikiza kisiikiriza abantu bisatu; Ensi ekankana, era eddoboozi liragira abantu okwenenya; Neefi ne Leki banyumya ne bamalayika, era enkuyanja y’abantu ne yeetooloolwa omuliro. Nga mu mwaka gwa 30 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era olwatuuka nga mu mwaka guno gwe gumu, laba, Neefi yawaayo entebe ey’obulamuzi eri omusajja erinnya lye Sezolamu.
2 Kubanga amateeka gaabwe n’obufuzi bwabwe nga bwe byali byateekebwawo eddoboozi ly’abantu, era abo abaalondawo obubi baali bangi okusinga abo abaalonda obutuukirivu, n’olwekyo baali beengerera eri okuzikirizibwa, kubanga amateeka gaali gonooneddwa.
3 Weewaawo, era bino tebyali bye byokka; baali bantu abakakanyavu ab’ensigo, ddala okutuusa nti baali tebasoboka kufugibwa mateeka wadde obwenkanya, okuggyako kino kinaavaamu okuzikirizibwa kwabwe.
4 Era olwatuuka Neefi yali mweraliikirivu olw’ebibi byabwe; era n’awaayo entebe ey’obulamuzi, era n’atwala obuvunaanyizibwa bw’okubuulira ekigambo kya Katonda ennaku ze zonna ezaali zisigaddeyo, ne muganda we Leki naye bw’atyo, ennaku ze zonna ezaali zisigaddeyo;
5 Kubanga bajjukira ebigambo kitaabwe Keramani bye yayogera gye bali. Era bino bye bigambo bye y’ayogera:
6 Laba, batabani bange, njagala mujjukirenga okukuuma ebiragiro bya Katonda; era nnandyagadde mulangirire ebigambo bino eri abantu. Laba, mbawadde amannya g’abazadde baffe abaasooka abaava mu nsi y’e Yerusaalemi; era kino nkikoze nti bwe munajjukiranga amannya gammwe musobole okubajjukira; era bwe munabajjukiranga musobole okujjukira ebikolwa byabwe; era bwe munajjukiranga ebikolwa byabwe musobole okumanya nti kigambibwa, era ate kiwandiikiddwa, nti byali birungi.
7 N’olwekyo, batabani bange, nnandyagadde mukole ekyo ekirungi, olwo balyoke baboogereko, era n’okubawandiikako, ddala nga bwe bazze boogerwako n’okuwandiikibwako.
8 Era kaakano batabani bange, laba nnina ebirala bye njagala okuva gye muli, nga kyenjagala kye kino, nti muleme okukola ebintu bino olw’okwegulumiza, wabula mukole ebintu bino okusobola okweterekera eky’obugagga mu ggulu, weewaawo, eky’olubeerera, era ekitaggwerera; weewaawo, mulyoke mubeere n’ekirabo ekyo eky’omuwendo eky’obulamu obutaggwaawo, kye tulina ensonga okulowooza nti kiweereddwa n’eri bakitaffe.
9 Ayi mujjukire, mujjukire, batabani bange, ebigambo kabaka Benyamini bye yayogera eri abantu be; weewaawo, mujjukire nti tewali kkubo wadde engeri yonna omuntu mwayinza okulokolebwa, wabula okuyita mu musaayi gwa Yesu Kristo gwokka ogutangirira, alijja; weewaawo, mujjukire nti ajja okununula ensi.
10 Era mujjukire n’ebigambo Amuleki bye yayogera eri Zeziromu, mu kibuga Amonayika; kubanga yamugamba nti mazima ddala Mukama alijja okununula abantu be, wabula talijja kubanunula mu bibi byabwe, wabula okubanunula okuva mu bibi byabwe.
11 Era alina obuyinza obwamuweebwa okuva eri Kitaffe okubanunula okuva mu bibi byabwe olw’okwenenya; n’olwekyo atumye bamalayika be okulangirira amawulire ag’obukwakkulizo bw’okwenenya, obuleeta eri amaanyi g’Omununuzi, olw’okulokolebwa okw’emyoyo gyabwe.
12 Era kaakano, batabani bange, mujjukire, mujjukire nti ku lwazi lw’Omununuzi waffe, nga ye Kristo, Omwana wa Katonda, kwe muteekwa okuzimba omusingi gwammwe; nga olwo setaani bw’alisindika empewo ze ez’amaanyi, weewaawo, ebimyanso bye mu kibuyaga, weewaawo, omuzira gwe gwonna n’omuyaga gwe ogw’amaanyi bwe biribagwiira, tebiribeera na maanyi ku mmwe okubasindiikiriza wansi mu kiwonvu eky’ennaku n’ebiwoobe ebitakoma, olw’olwazi kwe muzimbiddwa, nga gwe musingi ogwa nnamaddala, omusingi singa abantu baba baguziimbyeko tebasobola kugwa.
13 Era olwatuuka bino bye byali ebigambo Keramani bye yayigirizanga batabani be; weewaawo, yabayigiriza ebintu bingi ebitawandiikiddwa, era n’ebintu bingi ebiwandiikiddwa.
14 Era bajjukiranga ebigambo bye; era n’olwekyo baagenda mu maaso, nga bakuuma ebiragiro bya Katonda, okuyigiriza ekigambo kya Katonda mu bantu bonna abe Neefi, nga batandikira mu kibuga e Kyengera;
15 Era okuva eyo okutuuka mu kibuga e Gidi; era n’okuva mu kibuga e Gidi okutuuka mu kibuga e Muleki;
16 Era ddala n’okuva mu kibuga ekimu okudda mu kirala, okutuusa lwe baali batuuse mu bantu bonna aba Neefi abaali mu nsi ey’omu bukiikaddyo; era okuva eyo okuyingira mu nsi ya Zalakemula, mu Balamani.
17 Era olwatuuka baabuulira n’amaanyi mangi ddala, okutuusa nti baabuzabuza bangi ku abo abaali baabulidde Abaneefi, okutuusa nti bavaayo ne baatula ebibi byabwe era ne babatizibwa ku lw’okwenenya, era amangu ddala ne baddayo eri Abaneefi okufuba okulaba nga bagezaako okutereeza ensobi ze baali bakoze.
18 Era olwatuuka Neefi ne Leki baabuulira eri Abalamani n’amaanyi n’obuyinza eby’amaanyi bwe gatyo, kubanga baalina amaanyi n’obuyinza ebya baweebwa basobole okwogera, era n’ebyo bye baalina okwogera byali bibaweereddwa.
19 N’olwekyo baayogera ebyewuunyisa ennyo Abalamani, n’okutuuka okubamatiza, okukkakana nti baali Abalamani kanaana abaali mu nsi ya Zalakemula era n’okwetooloolawo abaabatizibwa ku lw’okwenenya, era ne bakakasibwa obubi obw’obulombolombo bwa bajjajjaabwe.
20 Era olwatuuka Neefi ne Leki beeyongerayo okuva eyo ne bagenda mu nsi ya Neefi.
21 Era olwatuuka baatwalibwa eggye ly’Abalamani ne basuulibwa mu kkomera; weewaawo, ddala mu kkomera eryo lye limu Ammoni ne baganda be mmwe baasuulibwa abaweereza ba Limuki.
22 Era oluvannyuma lw’okusuulibwa mu kkomera ennaku nnyingi nga tebalina mmere, laba, baayingira mu kkomera okubatwala olwo balyoke babatte.
23 Era olwatuuka Neefi ne Leki baali beetooloddwa ekyali nga omuliro, ddala okutuusa nti tebetantala kubasaako ngalo zaabwe olw’okutya nti bandyokebwa. Wabula, Neefi ne Leki tebaayokebwa; era nga balinga abayimiridde wakati mu muliro ne batayokebwa.
24 Era bwe baalaba nga beetooloddwa empagi ey’omuliro wonna, era nga tegubookya, emitima gyabwe gy’afuna obuvumu.
25 Kubanga baalaba Abalamani nga tebetantadde ku bateekako ngalo zaabwe; wadde okugezaako okubasemberera, wabula bayimirira nga balinga abazibye omumwa olw’okuwuniikirira.
26 Era olwatuuka Neefi ne Leki baayimirira era ne batandika okwogera gye bali, nga bagamba nti: Temuba na kutya, kubanga laba, Katonda y’abalaze ekintu kino eky’ekitalo, nga mu kyo musobozeseddwa okulaba nti temuyinza kututeekako ngalo zammwe okututta.
27 Era laba, bwe baali boogedde ebigambo bino, ensi yakankana ekisusse, era ebisenge by’ekkomera byakankana nga biringa ebinaatera okugwa ku takka; naye laba, tebyagwa. Era laba, abo abaali mu kkomera baali Balamani n’Abaneefi abaali bakyewaggula.
28 Era olwatuuka basiikirizibwa ekire eky’ekizikiza, era okutya okw’amaanyi okw’entiisa ne kubajjula.
29 Era olwatuuka ne wajjawo eddoboozi nga liringa eryali waggulu w’ekire eky’ekizikiza, nga ligamba nti: Mwenenye mmwe, mwenenye mmwe, era mulekere awo okugezaako nate okuzikiriza abaweereza bange bentumye gye muli okulangirira amawulire amalungi.
30 Era olwatuuka bwe baawulira eddoboozi lino, era ne balaba nti teryali ddoboozi lya kubwatuka, wadde okubeera eddoboozi ery’oluyoogaano olw’amaanyi, wabula laba, lyali ddoboozi lya kimpowooze ery’obukkakkamu obutuukiridde, nga kiringa nti kaali kaama, era lyafumitira ddala ku mmeeme kwennyini;
31 Era wadde nga eddoboozi lyali lya bukkakkamu, laba ensi eyakankana ekisukkiridde, era ebisenge by’ekkomera byakankana nate, nga biringa ebyali binaatera okugwa ku takka; era laba ekire eky’ekizikiza, ekyali kibasiikirizza, tekyavaawo;
32 Era laba eddoboozi lyakomawo nate, nga ligamba nti: Mwenenye mmwe, mwenenye mmwe, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka; era temuddamu kugezaako kuzikiriza abaweereza bange. Era olwatuuka ettaka lyaddamu nate okukankana, era n’ebisenge ne bikankana.
33 Era eddoboozi lyakomawo nate omulundi ogw’okusatu, era lyayogera gye bali ebigambo ebirungi ebitasobola kutottolwa muntu; era ebisenge byaddamu nate okukankana, era ettaka lyakanakana nga liringa eryali linaatera okwabulukukamu.
34 Era olwatuuka Abalamani baali tebasobola kudduka olw’ekire eky’ekizikiza ekyali kibasiikirizza; weewaawo, era baali tebasobola kuseguka olw’okutya okwabajjula.
35 Kaakano waaliwo omu mu bo eyali ow’obuzaale bw’Abaneefi, nga yali abaddeko ow’ekkanisa ya Katonda wabula nga yali yabaabulira.
36 Era olwatuuka yakyuka ye kennyini, era laba, n’alaba okuyita mu kire eky’ekizikiza obwenyi bwa Neefi ne Leki; era laba, baayakayakana nnyo, ddala ng’obwenyi bwa bamalayika. Era yalaba nga baali bayimusizza amaaso gaabwe eri obwengula; era nga balinga abali mu mbeera ey’okwogera oba okuyimusa amaloboozi gaabwe eri ekitonde ekimu kye baali balaba.
37 Era olwatuuka nti omusajja ono yakaabirira enkuyanja y’abantu, basobole okukyuka era batunule. Era laba, waaliwo amaanyi agabaweebwa nti baakyuka era ne batunula; era ne balaba obwenyi bwa Neefi ne Leki.
38 Era ne bagamba omusajja nti: Laba, ebintu bino byonna bitegeeza ki, era y’ani oyo abasajja bano gwe banyumya naye?
39 Kaakano erinnya ly’omusajja lyali Aminadabu. Era Aminadabu n’abagamba nti: Banyumya ne bamalayika ba Katonda.
40 Era olwatuuka Abalamani ne bamugamba nti: Tunaakola tutya, ekire kino eky’ekizikiza okuggyibwawo kireme okutusiikiriza?
41 Era Aminadabu n’abagamba nti: Mulina okwenenya, era muwanjagire eddoboozi, ddala okutuusa nga mufunye okukkiriza mu Kristo, eyababuulirwa Aluma, era ne Amuleki, era ne Zeziromu; era bwe munaakola kino, ekire eky’ekizikiza kinaggibwawo obutabasiikiriza.
42 Era olwatuuka bonna baatandika okuwanjagira eddoboozi ly’oyo eyali akankanyizza ettaka; weewaawo, baawanjaga n’okutuusa ekire eky’ekizikiza lwe kyavaawo.
43 Era olwatuuka bwe betoolooza amaaso gaabwe, era ne balaba ng’ekire eky’ekizikiza kivuddewo obutabasiikiriza, laba, baalaba nti baali beetooloddwa, weewaawo buli muntu, n’empagi ey’omuliro.
44 Era Neefi ne Leki baali mu masekkati gaabwe; weewaawo, baali beetooloddwa; weewaawo, nga balinga abali wakati mu nnimi ez’omuliro ezibumbugya, naye nga ate tegwabakolako bulabe, wadde okukwata ku bisenge by’ekkomera; era bajjuzibwa essanyu eryo eritoogerekeka era erijjudde ekitiibwa.
45 Era laba, Omwoyo Omutukuvu wa Katonda yakka okuva mu ggulu, era n’ayingira mu mitima gyabwe, era bajjuzibwa ogwalinga omuliro, era baasobola okwogera ebigambo ebyewuunyisa.
46 Era olwatuuka ne wajja eddoboozi gye bali, weewaawo, eddoboozi erisanyusa, nga liringa akaama, nga ligamba nti:
47 Emirembe, emirembe gibeere ku mmwe, olw’okukkiriza kwammwe mu mwagalwa wange omulungi, eyali okuviira ddala ku ntandikwa y’ensi.
48 Era kaakano, bwe baawulira kino baayimusa amaaso gaabwe waggulu nga balinga abalaba wa eddoboozi gye liva; era laba, baalaba obwengula nga bubikkuse; era bamalayika bakka okuva mu ggulu ne babaweereza.
49 Era nga waaliwo abantu ng’ebikumi bisatu abaalaba n’okuwulira ebintu bino; era baakubirizibwa okugenda mu maaso n’obuteewuunya, yadde okubuusabuusa.
50 Era olwatuuka baagenda, era baaweereza eri abantu, nga balangirira mu bitundu byonna ebyetolooddewo ebintu byonna bye baali bawulidde era n’okulaba, ddala okutuusa nti ekitundu ekisinga obunene eky’Abalamani baali babamatizza, olw’obukulu bw’obujulizi bwe baali bafunye.
51 Era bangi nga bwe baali bamatiziddwa baateeka wansi ebyokulwanyisa byabwe eby’olutalo, era n’obukyayi bwabwe n’obulombolombo bwa bajjajjaabwe.
52 Era olwatuuka baddiza Abaneefi ettaka lyabwe ery’obwannannyini.