Scriptures
Omuko gw’Omutwe Omukulu ogw’Ekitabo kya Momoni


Ekitabo kya Momoni

Enyinnyonnyolwa Ewandiikiddwa
Omukono gwa Momoni
ku Mbaati,
Eyaggyibwa ku Mbaati za Neefi

N’olwekyo, kwe kufunzibwa kw’ebiwandiiko by’abantu ba Neefi era n’Abalamani; Ebyawandiikibwa eri Abalamani, abo abaafikkawo ku b’ennyumba ya Isiraeri; era n’eri Abayudaaya era n’Abamawanga; Byawandiikibwa olw’ekiragiro, era n’olwo omwoyo ogw’obunnabbi era n’okubikkulirwa; Byawandiikibwa era ne bissibwaako envvumbo, era ne bikwekebwa eri Mukama, olwo bireme okusaanyizibwawo; Biryoke biveeyo olw’ekirabo era n’amaanyi ga Katonda olw’okuvvuunulwa kwabyo; Byassibwako envvumbo omukono gwa Moloni, era ne bikwekebwa eri Mukama, biveeyo mu kiseera ekituufu okuyitira mu Bamawanga; N’okuvvuunulwa kwabyo olw’ekirabo kya Katonda.

N’ebyafunzibwa ebyaggyibwa mu kitabo kya Eseri nate, nga kino kye kiwandiiko ky’abantu ba Yaledi, abasaasaanyizibwa mu kiseera Mukama we yatabulira olulimi lw’abantu, bwe baali bazimba omunaala okutuuka mu ggulu; Nga kino kwe kulaga abaafikkawo ku b’ennyumba ya Isiraeri ebintu ebikulu Mukama by’akoledde bakitaabwe; era balyoke bamanye endagaano za Mukama, nti tebaasuulibwa lubeerera; Era n’okumatiza Omuyudaaya ne Munnagwanga nti YESU ye KRISTO, KATONDA OW’OLUBEERERA, nga yeeyoleka eri amawanga gonna; Era kaakano, singa wabeeraawo ensobi ezo zibeera nsobi z’abantu; n’olwekyo, temusalira musango bintu bya Katonda, mulyoke musangibwe nga temulina bbala lyonna ku ntebe y’obulamuzi eya Kristo.

ENZIVUUNULA EYASOOKA OKUZZIBWA MU LUNGEREZA OKUVA KU MBAATI
NGA KYAKOLEBWA JOSEPH SMITH, OMUTO